
Bya Miiro Shafik
Luweero, Bulemeezi.
Abantu ab’enjawulo beeyiye mu kibuga Luweero mu Bulemeezi okwerabira ku mpaka z’eggaali eza Buganda, ezibadde zirudde nga tezitegekebwa.

Abavuzi ab’enjawulo okubadde Abaami n’Abakyala beetabye ku kutolontoka nga bavuganyiza mu Masaza gaabwe era bano bavuze eggaali za bika bibiri (2); Maanyi ga Kufuna n’eggaali enzungu (Road Bikes). Bano bavuze kilomita 60 ne 90 mu basajja ate mu bakyala kilomita 30 ne 60. Kilomita ennyingi mu basajja n’abakazi zivugiddwa abo abavuze eggaali enzungu.

Minisita Robert Serwanga Ssaalongo ow’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone yaawubidde abavuzi bano okusimbula ku Edema Hardware e Kasana, Luweero olwo bano ne bantolontoka okuyita mu makubo agaabalambikiddwa bakira ng’enduulu etta abalabi.

Gye biggweredde ng’Amasaza Buddu, Bulemeezi ne Bugerere gakize ku malala mu kutolontoka kuno, era bakoze bwe bati; Buddu ewangudde mu Abaami abavuze eggaali zi maanyi ga kifuba ne mu bakyala abavuze eggaali enzungu.Bulemeezi ewangudde mu baami abavuze eggaali enzungu.Bugerere ewangudde mu bakyala abavuze eggaali zi maanyi ga kifuba.

Minisita Serwanga akwasiza abawanguzi ebirabo okubadde ebikopo n’emiddaali, era ayozaayozeza abawanguzi ne yeebaza n’abeetabyemu bonna bwatyo n’asaba abantu ba Buganda okuwagira empaka zino ng’agamba nti zitunuuliddwa okutumbula ebitone bingi. Oweek. Serwanga ategeezeza nti Empaka zino nazo zitambulizibwa ku mulamwa gwa kulwanyisa mukenenya era asabye Abavubuka naddala okwengedereza obulwadde buno kubanga butta, ate nga bwangu okwewala.

Oweek. Margaret Mutyaba Omumyuka wa Kangaawo, y’akikiiridde Kangaawo era asiimye nnyo olw’enteekateeka y’empaka zino okutandikira mu Ssaza ly’e Bulemeezi era aweze nti bakukola kyonna ekisoboka okulaba nga bawangula.
Empaka zino.Empaka zino zijja okuddamu nga 07/07/2024 era zijja kubeera mu Ssaza Ssingo.

#BugandaMasazaCyclingTour








