Bya Ssemakula John
Kiteredde
Olukiiko olutwala Bannakalooli Brothers mu Ekleziya Katolika bategeezezza nti omusawo omunnoonyereza Bro Anatoli Wasswa agenda kuziikibwa ku Mmande ya wiiki ejja nga 9, January, 2023.
Ekiwandiiko ekiriko omukono gw’ omwogezi wa Bannakalooli Brothers, Charles Dominic Kagoye kigamba nti omugenzi wakuziikibwa mu limbo yaba Brother esangibwa e Kiteredde mu disitulikiti ye Kyotera.
Omukolo guno gujja kutandika n’ekitambiro ky’ emmisa ekigenda okutandika ku ssaawa 6 ez’omutuntu ku Mmande n’oluvannyuma aziikibwe.
Bro. Anatoli Wasswa Kiriggwajjo afudde ku makya ga Mmande mu ddwaliro e Mulago gyabadde yatwaliddwa okulongoosebwa omutima. Bro. Anatoli ajjukirwa nnyo olw’okubeera munnaddiini eyasooka okuvumnbula n’okukozesa eddagala ly’ ekinnansi wakati nga abalala bonna baali balowooza nti bino byali byakirogo.
Brother Father Anatoli Wasswa abadde amanyikiddwa nnyo mu kwokya ebyawongo kko n’okuzibula abantu amaaso ku bukodyo abasamize n’abasawo ab’ekinnansi bwebakozesa mu kubba abantu.
Bro. Anatoli Wasswa afiiridde ku myaka 97 ate nga obwa ‘Brother’ abadde abumazzeemu emyaka 75 era abadde agenda kujaguza olw’ekkula lino.