• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Boogeredde gav’t ebisongovu mu kuziika Owek. Sserubogo

Gambuuze by Gambuuze
June 17, 2021
in Amawulire
0 0
0
Boogeredde gav’t ebisongovu mu kuziika Owek. Sserubogo
0
SHARES
184
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kayunga – Bugerere

Abakungubazi ab’enjawulo boogeredde gavumenti ebikikinike mu kuziika abadde ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga, Owek. Muhammad Ffeffekka Sserubogo e Kayunga ku Lwokuna ne bawakanya ebyavudde mu alipoota y’abasawo ebyalaze nti Sserubogo yeetuze.

Omu ku bakungubazi era akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba nga y’atuusizza obubaka bwa Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, ategeezezza nti Sserubogo abadde muntu wa nsonga ate omwetowaze.

“Mwebale kulonda Sserubogo n’obumalirivu nga temutidde, mmwe abasigadde temuva wano kusiita bigere kuba omulabe akyaliwo yeeswanta naye mutuwe Sserubogo omulala.” Owek. Mpuuga bw’agambye.
Owek. Mpuuga asabye ab’e Kayunga bamalirire basobole okuggusa ensonga Sserubogo z’abadde ayimirirako era n’abasaba okulema okutya ababatiisatiisa naye beegatte wamu bayambe ekitundu kino.

“Sserubogo tafudde bufi nti kiyenje kyakooye ne kifa naye afiiridde wakati mu lutabaalo. Naye nnina amaanyi nti eggwanga lino lijja kudda mu mikono gya bannyini lyo baliwe obwekanya n’abadde omulabe aganyulwemu.” Owek. Mpuuga bw’ategeezezza.

Omubaka Sseggona asabye abantu abagula ettaka mu kitundu ky’e Kayunga ne Bugerere okwegendereza ku ani gwe bagulako era bagula batya kuba abaana ba Buganda bajja ku bibabuuza akadde konna.
Ono awakanyizza alipoota y’abasawo n’ategeeza nti ebibuuzo ku nfa ya Sserubogo bikyali bingi.
Abaganda tebaziika muntu yeetuze, sandivudde Busiro kujja wano kuziika muntu yeetuze naye tuli wano okuziika mulwanyi munnaffe.

Ate ye omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga, Aidah Nantaba, annyonnyodde nti Kayunga efuuse ekirala naye waliwo ebibuuzo ku nfa ya Sserubogo.
“Tuyinza kuba tulinda alipoota y’abakugu ku nfa ya Sserubogo naye ffe eyaffe tugirina. Tetwalabye baleeta mbwa kuwunyiriza naye tulabye kimu miggo gikuba bazze kuziika. Okukulembera Bugerere kati kufuuse buzibu, bw’okwata ku nsonga y’ettaka entaana oba ogisimye.” Omubaka Nantaba bw’annyonnyodde.

Ate akulira ekibiina kya NUP mu Mukono, Betty Nambooze Bakireke, agambye nti abadde amanyiganye ne Ffeffekka Sserubogo era abadde musajja wa Kabaka ateerya ntama.

“Tuli wano naye ne Katonda amanyi ekyabaddewo, wabaddewo ang’amba nti Ffeffekka atambuza omuggo yawalampye atya omuti mu kkanzu, waliwo ebintu ebikolwa ne Shaitwani naye bye yeewakana nti nange eyo sabaddeyo.” Omubaka Nambooze bw’annyonnyodde.

Oluvannyuma omugenzi aziikiddwa ku biggya e Kayunga mu ssaza lya Beene ery’e Bugerere era nga Mugerere yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obukungubagira musajja we.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Betty NamboozeBuganda KingdomFfeffeka SserubogoMathias MpuugaMedard Ssegona
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.