Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atongozza olukiiko olupya olufuga leediyo ya Ssaabasaja Kabaka CBS. Olukiiko oluggya olukulemberwa Omukungu Mathias Katamba lwalondebwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde, oluvanyuma lw’okufa kweyali Ssentebe Oweek. Godfrey Kaaya Kavuma. Nga ayogerako eri olukiiko luno, Mayiga akulisizza nnyo abo abaalondebwa n’agamba nti balina okukola obutaweera okwongera okukuumira CBS erina emikutu ebiri ogwa 88.8 Ey’obujjajja, ne 89.2 Emmanduso ku ntikko.
“Obuweereza kintu kya buvunanyizibwa ate kya kitiibwa. Abantu bangi munsi abagezi abayitirivu ate nga balina obumanyirivu naye nga tetufuna mukisa kugabana kw’ebyo byebamanyi. Mwe Kabaka okubaggyayo nasiima mutugabanyizeeko kw’ebyo byemumanyi okutambuza leediyo ye, kya muwendo munene. Mbebaza okukkiriza obuvunaanyizibwa,” Mayiga bwagambye. Agasseeko nti alina essuubi ddene nti baggya kuleetawo enjawulo mu mpeereza ya CBS ey’emirimu.
Mayiga anokoddeyo ebintu bitaano byayagala olukiiko lulondoole okulaba nga bituukirizibwa. Mu bino mulimu, okukuuma eby’obuwangwa n’ennono za Buganda, okutuusa eddoboozi lya Ssabasajja Kabaka, erya Katikkiro, erya gavumenti ya Kabaka n’erya Buganda mu bantu ba Buganda ne Banna Uganda bonna. Mubirala mulimu okutema empenda eziyamba abantu mu Buganda okwezimba n’okukulaakulana wamu n’okuyamba abantu naddala abavubuka okuvumbula n’okukuza ebitone mu mirimu gyabwe ejenjawulo wamu n’okunyweza obumu mu bantu ba Buganda ne Bannayuganda bonna.
“Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka erowooza ebyo ebitaano byesoosowaza era byetulowooza nti bye munaalondoola nga boodi,” Mayiga bwagambye. Ow’omumbuga era asabye boodi okulaba nga amayengo ga CBS gasaasaanira Buganda yonna saako ebitundu ebirala ebirimu Abaganda abangi. Ku lulwe, Katamba asuubizza okukola obuteebalira okulaba nga batuukiriza ebyo ebibasuubirwamu.
Olukiiko lukulemberwa Mathias Katamba n’amyukibwa
Omuk. David Balaka. Ate ba memba ye
Owek John W. Katende
Owek. Eng. Hubert R. Kibuuka
Omuk. John Fred Kiyimba
Omuk. Mansoor Bunnya
Omuky. Solome Nasejje Luyombo
Omuk. Micheal Kawooya Mwebe