Musasi waffe

Omubaka akiikirira obuvanjuba bw’essaza ly’e Kyaddondo era omukulembeze w’ekisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power, Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine olwaleero alangiridde nga bwekkiriziganyizza ne munnakibiina kya FDC, Dr Kizza Besigye okukolaganira awamu okusobola okumegguzza pulezidenti Museveni.
Bwebabadde bogerera mu lukungaana lwa Bannamawulire mu kibuga Kampala, ababiri bano bagambye nti akadde keekano ak’okukwatira awamu basobole okuwangula Museveni.
“Njagagala okutegeeza abawagizi baffe nti tulina ebitugatta bingi okusinga ebitwawula. Twagala kuwangula Museveni n’abanyunyunsi mu gavumenti ye n’olwekyo kyetaagisa ffenna okukwatira awamu,” Kyagulanyi bwagambye.
Yayongeddeko nti kyennyamiza nti abantu abalina ebigendererwa ebifaanagana okuba nga bakoonagana wamu n’okweyogerera amafuukuule.
Ku lulwe, Besigye yagambye musanyufu nti abakulembeze baakizudde nti okwerumaaluma tekiyamba.
“Bannayuganda bali mu mbeera mbi olw’obulwadde bwa COVID obwakiraze lwatu nti gavumenti eno tebafaako. Ndi musanyufu nti tugenda kukozesa omukisa guno twegatta wamu n’okugatta eggwanga lyonna,” Besigye bweyagambye.
Bano baabadde Wakiso gyebalangiriridde kaweefube w’okulaga obutali bumativu eri gavumenti nengeri gyekuttemu ekirwadde kya covid-19.
Kaweefube waabwe gwebaatuumye, No, nedda; baagala buli ssaawa musanvu abantu okwetooloola eggwanga okujjayo amasepiki, ebidomola, engombe, emirere, n’bivuga ebirala babikube okulaga obutali bumativu bwabwe.
Olukungaana luno lwetabiddwamu bannabyabufuzi nga Patrick Amuriat, Ssemujju Ibrahim Nganda, Betty Nambooze, Asuman Basalirwa, Erias Lukwago, n’abalala