Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya ‘National Unity Platform(NUP)’, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine agambye nti gavumenti y’eri emabega w’omukyala akaayanira ettaka okutunde ennyumba ye nti zirimu ebyobufuzi. Kyagulanyi bino abyogedde oluvannyuma lw’omukazi eyategeerekese nga Justine Nakamatte Namusisi, okuddukira mu kkooti asengule Bobi Wine wamu ne balirwana be abawera 2000 ng’agamba bano baasenga ku ttaka lye mu bukyamu.
Bobi Wine alaze nga gavumenti bw’eri emabega w’okukyala ono era ng’eyagala kutwala buli kimu ky’alina kuba ettaka lino yaligula mu makubo matuufu era ng’alimazeeko emyaka egisoba mu 10.
“Tewali kye batagenda kukola. Wadde mbadde n’ettaka e Magere, Kamwokya ne Busabaala okumala emyaka egisoba mu 10, namala kulangirira kuvuganya Museveni ne batandika okutwala emisango egitalina makulu mu kkooti nga baagala okutwala ebyobugagga byange.” Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi annyonnyodde nti bano tebalina kye baagala kumulekera era kakodyo okubakuumira mu misango gino nga bwe bagenda mu maaso n’okunyaga eggwanga.
Ono agasseeko nti ne bwe banaakola byonna tajja kuggwaamu maanyi era ku nkomerero bannayuganda bajja kumaliriza be bawanguzi.
Guno si gwe mulundi ogusoose Kyagulanyi okutwalibwa mu kkooti ku nsonga z’ettaka nga mu 2018 yafuna obutakkaanya n’ekitongole kya Buganda Land Board ku ttaka ly’e Busaabala okuli One Love Beach.