Bya Musasi waffe
Omubaka wa Kyaddondo mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddeyo nategeeza nga gavumenti bwekola buli kimu okulaba nga emusuula mu by’obufuzi.
Mu bubaka bwatadde ku mikutu gye ku mutimbagano Kyagulanyi agambye nti, “Bagezaako okutulemesa nekitakola, kati balaba abantu bangi abajja ku woofiisi zaffe okwewandiisa nekibatiisa.
Olwokuba Kyagulanyi ye pulezidenti w’ekibiina kino era nga balaba afuna obuwagizi okuva mu bitundu eby’enjawulo bajja kukozesa abantu ab’ebika byonna n’okuwaaba ebisangosango naye ffe tetujja kuva ku mulamwa”. Bobi Wine bweyategezezza.
Kino kiddiridde munnamateeka James Byamukama okutegeeza nga akakiiko k’ebyokulonda nga Kyagulanyi bweyafuna ekibiina kino mu bukyamu.
Byamukama yalaze nti waliwo ensobi ezakolebwa Kyagulanyi nga akyuusa ekibiina ki ‘National Unity, Reconcilliation and Development Party’ NURP okukifuula ‘National Unity Platform’ NUP kubanga teyagoberera mateeka.
Ono agamba nti Ttabamiruka w’ekibiina eyalina okubeeramu abantu 400, kw’olwo yalimu abantu 51 bokka ate nga abasinga tebabamanyi.
Byamukama era awakkanya engeri ekibiina bwekyava ku linnya lya ‘NURP’ nekifuuka ‘NUP’ n’okukyusa obubonero ne langi kubanga tebyali mu mateeka.
Ono agamba nti singa akakiiko k’ebyokulonda kalemwa okutereeza ensobi eno mu bwangu, agenda kuddukira mu kkooti yeba esalawo eky’ enkomeredde.