Bya Ssemakula John
Kamwokya
Eyeegwanyiza obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo natangaaza ku njawulo y’emyaka eri mu bipapula bye eby’enjawulo okuli n’obuyigirize.

Bobi Wine agambibwa okukyusa erinnya lye wamu n’emyaka gye okusobola okutuukiriza ebirooto bye naddala eby’obufuzi.
Kino kiddiridde Munnamateeka omu mu Kampala okugenda mu kakiiko k’ebyokulonda nasaba empapula za Kyagulanyi nga agamba nti zirimu ebitakwatagana.
Munnamateeka ono yalaga nti wadde ebiwandiiko by’obuyigirize biraga nti alina emyaka 40 ate zeyawaayo okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti e Kyaddondo ziraga nti ono alina emyaka 38.
Munnamateeka ono yaddukira mu kkooti nga ayagala eremese Omubaka Kyagulanyi okwesimbawo mu kalulu ka 2021 nga agamba nti simwesimbu.
Leero mu lukungaana lwa bannamawulire Bobi Wine agambye nti emyaka gye gyakyuka mu pulayimale okusobola okumukiriza okutuula ebibuuzo bya P.7.
Bobi Wine yanyonyodde nti, “Olw’okuba nali nsomedde mu masomero 6 olw’ebizibu bya fiizi, Kitange yatuukirira omukulu w’essomero lya Kinoni Primary School nga asaba amuyambe akkirize anzikirize ntuule ebibuuzo bya P.7 ebyakamalirizo wadde nali mu P.6.”
Kyagulanyi agamba nti olw’ensonga eyo yamalako Ttaamu ey’okusatu gyeyalina okubeera mu P.6 nga asoma P.7 MU 1992.
Ono agattako nti kitaawe yaweebwa amagezi nti ayongereko ku myaka gye gituukane ne gya mukulu we Walakira eyali agenda okutuula P.7.
Bobi Wine agamba nti ensobi eno azze atambula nayo mu S.4 ne S.6 nebweyagenda mu ssettendekero wa Makerere.
Ono yagambye nti bweyali afuna akatabo ka Paasipooti mu 2000 yagezaako okukyusa emyaka gye okulaga ekituufu era aliko n’ekirayiro kyeyakuba nga enkola bweri mu mateeka.
Kyagulanyi agamba nti abamulumiriza okutoola ku myaka gye bakyamu kubanga tasobola kubeera nga yazaalibwa mu February wa 1980 mu kaseera kano mukulu we Julius Walakira yalina emyezi esatu gyokka.
Ono yategeezezza nti byonna eby’okumutwala mu kkooti abimanyi birimu omukono gwa Pulezidenti Museveni kubanga kano akakodyo azze akakozesa ku bantu ab’enjawulo omuli ne Dr. Kizza Besigye.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2006, eyali omubaka Moses Kizige yagenda mu kkooti nga awakkanya obuyigirize bwa Besigye ekintu Bobi Wine kyagamba nti lwali lukwe lwa Museveni.