• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine atabukidde ab’oludda oluvuganya abanenya NUP ku muyizi wa UCU eyafiira e Makerere

Gambuuze by Gambuuze
July 19, 2022
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine atabukidde ab’oludda oluvuganya abanenya NUP ku muyizi wa UCU eyafiira e Makerere

Musician and opposition candidate Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine during the press conference encouraging his "people power" supporters to continue wearing their trademark red berets in Kampala. Uganda's military announced that red berets had been gazetted, and civilians in possession of them could be punished with up to five years in prison. (Photo by Sally Hayden / SOPA Images/Sipa USA)(Sipa via AP Images)

0
SHARES
69
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omukulembeze  w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine atabukidde ab’oludda oluvuganya olw’okusonga mu kibiina kye okuvunaanyizibwa obutereevu ku nfa y’omuyizi wa Uganda Christian University (UCU), Betungura Bewatte.

Bewatte eyali asoma mu mwaka gwe ogw’okubiri ku UCU, yafumitiddwa  ekiso nga abawagizi beyeesimbye ku kkaadi ya NUP bwebaali balemesa munnakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC),  Justus Tukamushaba okuyingira mu kisaawe kya Makerere Rugby Grounds.

Abakulembeze mu bibiina eby’enjawulo ku ludda oluvuganya omuli ne Justice Forum(JEEMA) bakyanenya NUP olw’okulemwa okukoma ku bawagizi baakyo.

Kyagulanyi agamba nti kyansonyi okulaba nti bannabwe ku ludda oluvuganya babanenya ku kino kyokka nga bakimanyi nti gavumenti esobola bulungi okubeera emabega w’olukwe luno.

“Ekisinga okumalamu amaanyi kwekuba nti abantu  abali ku ludda olumu naffe ate batunenya olw’okufa kw’omwana ono nga tewali kunoonyereza kwonna kwali kukoleddwa,” Kyagulanyi bw’agambye.

Okusinziira ku Bobi Wine emu yeemu ku ngeri gavumenti gyeyagala okuteekawo enjawukana mu bagivuganya awamu nokwonoona erinnya lya NUP nga ebalaga nga abantu abaagala obuvuyo.

Kyagulanyi yasabye bannayuganda okusigala nga amaaso gabwe bagakuumira ku mulabe gwebalina kuba ali omu nga eby’okwetematemamu nga abavuganya tebirina gwebigenda kuyamba kuwangula Pulezidenti Museveni.

Bobi Wine agamba nti gavumenti ekyaleeta obutego bungi okulaba nti eyongera okwawula mu bantu abagivuganya esobole okwenywereza mu buyinza.

Ono yakubagiza abafamire awamu n’ ettendekero lya UCU era nasaba abakwatibwako okukola kyonna ekisoboka ebikolwa bwebiti bireme kuddamu kulabikira mu bayizi.

Share this:

Tags: Bobi WineForum for Democratic Change (FDC)Justice Forum(JEEMA)Makerere UniversityNational Unity Platform (NUP)Robert Kyagulanyi SsentamuUganda Christian University
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist