Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) asabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni anywerere ku bigambo bye yayogera n’ebisuubizo bye yakola nga yaakakwata obuyinza mu 1986.

Kyagulanyi yategeezezza nti ku ssaawa ya leero Pulezidenti Museveni tayagala kumujjukiza bweyamo bwe yakola wadde nga yabukola yeeyagalidde era nga tewali amukaka.
Okwogera bino Kyagulanyi yasinzidde ku mukutu gwe ogwa Facebook eggulo ku Ssande bwe yabadde ayogerako eri abawagizi be oluvannyuma lw’okuyimbulwa mu kkomera e Nalufenya.
“ Pulezidenti Museveni emabega wayogera mu ngeri eno yennyini gye njogera naye kati tayagala muntu yenna ku mujjukiza ebigambo ye kennyini bye yayogera. Ffe tukugamba ekintu kimu nti beera musajja onywerere ku bigambo byo, kuuma ekigambo kyo,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Kyagulanyi yategeezezza nti, “Wagamba nti ekizibu kya Africa si bantu naye abakulembeze abatayagala kuva mu buyinza. Olumu wagamba nti enkyukakyuka eyannamaddala yali ezze mu Uganda.”
Bobi Wine yannyonnyodde nti wadde ezimu ku nsonga ezaatwala Museveni mu nsiko kwali kuba nti Obote yali asse abantu naye akola kye kimu era nga bangi bafiiriddwa obulamu bwabwe.
Ono yaweze okugenda mu maaso n’olutabaalo luno okutuusa ng’ataddewo Uganda empya kubanga Museveni bye yasuubiza omwali okuleeta demokulaasiya byonna byali byoya byanswa.
Kyagulanyi yagasseeko nti ensonga lwaki ab’ebyokwerinda bamugaanye okukuba enkung’aana mu bitundu by’amambuka lwakuba Pulezidenti Museveni tayagala abuulire bantu ekituufu.
Ku b’ebyokwerinda abakubye amasasi agasse abantu abawera 50 mu kwekalakaasa okwabalukawo oluvannyuma lw’okumukwata e Luuka, Kyagulanyi yategeezezza nti bano buli omu agenda kuvunaanibwa ng’omuntu ku bikolwa bino.
Kyagulanyi yasabye bannayuganda okuvaayo mu bungi balonde omuntu gwe baagala era bafube okukuuma akalulu kaabwe kaleme kubbibwa.








