URN
Omubaka wa Kyaddondo ey’obuvanjuba mu palamenti era akulira ekisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine olwaleero akkiriziganyizza n’akakiiko k’ebyokulonda wamu ne poliisi addemu okukuba enkugaanaze ez’okwebuuza ku bantu. Mu nsisinkano gyebabaddemu ku kitebe ky’akakiiko mu Kampala, abasatu bano bakizudde nti ebikolwa bya poliisi okuziyiza enkungaana za Bobi Wine bikontana n’etteeka erifuga okulonda kwa pulezidenti erwa ebbeetu oyo yenna ayagala okwesimbawo okuvuganya ku ntbe y’omukulembeze w’eggwanga okutaaalaga Uganda nga yeebuuza ku bantu. Ng’ayogerako ne Bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko, Simon Byabakama Mugenyi, akakulira yagambye nti Kyagulanyi wamu n’abalala abasatu okuli Nkwagabwa John Herbert, Mwesigye Fred ne Mwambazi Joseph, abamaze okulaga nti bagenda kwesimbawo balina okulekebwa okukola omulimu gwabwe awatali kukubirwa ku mukono kubanga kyebakola kiri mumateeka. Wabula Byabakama abasabye nti bewala okumenya amateeka naddala erirungamya enkugaana erya Public Order Management Act wamu n’obukwakulizzo obwateekebwawo akakiiko.
“Mwewale okukuba enkungaana mu nguudo kubanga kino kitaataaganya abantu abalala. Toyinza kungamba nti oyagala kufuna birowoozo by’abantu nga oli mu luggudo,” Byabakama bweyagambye.
Ate ye Polly Namaye ayogerera poliisi yagambye nti ensisinkano eno ebayambye okumanya enjawulo wakati w’okwebuuza ku bantu wamu okunonya obululu. Namaye yayongeddeko nti era bakiriziganyizza nti Kyagulanyi ne banne tebagenda kuddamu kuziyizibwa kwebuuza ku bantu bwe ebbanga lye banaamala nga bagoondedde amateeka.
Ku lulwe, Kyagulanyi yagambye nti wiiki eggya, agenda kuddamu ouwandiikira akakiiko k’ebyokulonda wamu ne poliisi nga abategeeza ku kwebuuzaakwe.