Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Plaform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, asazeewo okutongoza Manifesto ye akutwale mu kibuga ky’e Mbarara ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

“Ku Lwokutaano lwa wiiki eno, tugenda kutongoza manifesito yaffe mu kibuga Mbarara. Era tujja kuggulawo woofiisi zaffe mu butongole ku lunaku lwe lumu. Twabadde tutegese okutongoza manifesito yaffe eggulo ku kitebe e Kamwokya naye ndowooza mwalabye ekyabaddewo engeri ab’ebyokwerinda gye batukubye ttiyaggaasi n’amasasi,” Rubongoya bw’ategeezezza bannamawulire leero e Kamwokya.
Okusinziira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Lewis Rubongoya, Omubaka Robert Kyagulanyi, poliisi ekyamukuumira awaka nga temukkiriza kuvaayo naye akakasizza nti, baakusala amagezi gonna okulaba ng’ono atongoza manifesito ye mu kibuga kye Mbarara.
Rubongoya agambye nti bagenda kukozesa akakisa kano okuggulawo ettabi ly’ekibiina ery’ekitundu ky’Ankole okusobola okukwasaganya ensonga z’ekibiina.
Ono akakasizza nga Kyagulanyi bw’agobye obukuumi obwamuweereddwa akakiiko k’ebyokulonda oluvannyuma lw’okwewandiisa ng’agamba nti bano baalemeddwa okukola omulimu gwabwe.
“Pulezidenti waffe agaanye obukuumi obwamuweereddwa akakiiko k’ebyokulonda. Abo abalina okumukuuma ate be baayambye bannaabwe ab’ebyokerinda okumukwata e Kyambogo oluvannyuma lw’okwewandiisa,” Rubongoya bw’annyonnyodde.
Ab’ebyokwerinda ku Lwokubiri baalemesezza Bobi Wine okutongoza manifesito ye ku kitebe kye e Kamwokya oluvannyuma nebamusibira mu maka ge.
Ab’ebyokwerinda baakubye amasasi ne ttiyaggaasi era ng’abamu ku bawagizi ba Bobi Wine baafunye ebisago era nga bali mu kujjanjabibwa mu malwaliro ag’enjawulo okwetooloola eggwanga.








