Bya Ssemakula John
Kampala
Olukiiko lwa kkanso ya Kampala Capital City Authority (KCCA) lulemereddwa okutuula oluvannyuma lwa Senkulu w’ekitongole kino, Dorothy Kisaka okuwandiikira Loodimmeeya Erias Lukwago ne Sipiika Zaharah Luyirika nabategeeza nti tebakyalina nsimbi zisobola kuvujirira nkiiko zino.
Kino kiwaliriza abamu ku bakulembeze ku ludda lw’ebyobufuzi omuli Amyuka Loodimmeeya, Doreen Nyanjura ne Sipiika Zahara Luyirika okuyita olukiiko olwamangu balabe kyebazaako.
Sipiika Luyirika agamba nti olukiiko luno balutegeeza ab’ekikugu wiiki satu emabega wabula beewunyiza okulaba nga Senkulu Kisaka abategeeza nti talina ssente nga wabula olunaku lumu olutuula luno lubeewo.
Ono alumiriza nti bafunye ebbaluwa bbiri okuva ewa Ssenkulu wa KCCA ng’emu eraga nti tebalina ssente ate endala nga emutegeeza nti oludda lwakulembera telujja kusobola kubaawo kuba lulina okugenda mu Palamenti.
Luyirika ategeezezza nti abakulu bagezaako okunoonya ensonga zebalina okwekwasa naye nawera nti tebagenda kupondooka.
Ono annyonnyodde nti wadde tebatudde ku Lwokubiri naye bajja kuddamu batuule okuteesa ku mbalirira y’ekitongole ey’omwaka 2023/2024.
Omumyuka wa Loodimmeeya, Doreen Nyanjura agamba nti nabo ebbaluwa baagifunyeko naye neyeewuunya okulaba nti yasindikiddwa ng’ebula olunaku lumu kyokka nga ab’ekikugu babawandiikira wiiki satu emabega.
Nyanjura agamba nti Kisaka agezaako kubamalamu maanyi ku nsonga zebanoonyerezaako naddala ku ngeri kontulakiti z’okuddaabiriza enguudo mu Kampala gyezaagabibwamu ku butitimbe bw’ensimbi.
Abamu ku bakkansala ababadde mu lukiiko olw’amangu baweze okugenda mu maaso n’enkiiko zino baweereze abantu babwe wadde bammiddwa obuvujirizi okuva mu ludda lw’ekikugu.
Wabula amyuka Ssenkulu wa KCCA, Eng. David Luyimbazi, agamba nti tebalina kigendererwa kyonna kulemesa ntuula zino naye ensimbi zibaweddeko wadde yagaanye okwasanguza ssente mmeka zebeetaaga ku buli lutuula.
Luyimbazi alabudde nti bakugenda mu maaso n’okutegeka embalirira y’ekitongole nga si nsonga oba kkanso egikubaganyizaako ebirowoozo oba nedda.









