Bya Ssemakula John
Makindye – Kyaddondo
Ensonga z’abasibe abali mu kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye byongedde okwonooneka oludda oluwaabi bwelubaguddeko omusango omulala omupya ogw’okulya mu nsi olukwe.
Bino bibadde mu kkooti y’ amagye e Makindye mu maaso ga Ssentebe waayo Brig Gen. Robert Freeman Mugabe gyebabadde baleeteddwa okubawaako obujulizi ku musango gw’okusangibwa n’ebintu ebirina okubeera mu mikono gy’amagye
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti wakati w’omwezi gwa April ne May mu mwaka 2021 bano bateeka eggwanga ku bunkenke bwebaatulisa bbomu enkolerere mubitundu by’ eggwanga eby’enjawulo.
Wabula oludda oluwaabi lusanze akaseera akazibu oluvannyuma lwokulemererwa okulaga akabinja k’abayeekera oba ensi eyavujjirira bano okukola ebikolwa eby’ekiyeekera.
Akulira oludda oluwaabi, Lt Col. Rafael Mugisha wano waategeerezza kkooti nga bweyeetaaga okukola enoongosereza mu mpaaba yabwe nga baagala abasibe bano okubaggulako omusango omulala era ono kkooti emukkirizza.
Mu mpaaba esomeddwa Ssentebe wa kkooti eno, Brig Gen. Mugabe ategeezezza nti bano bbomu baziturisiza mu bitundu bye Nateete, Nakulabye, Kireka, Nakasero, Kawempe, Jinja, Mbale nawalala.
Empaaba eraga nti bano bbomu zino baazitulisizanga mu motoka nemubizimbe mubitundu ebyo.
Wabula bannamateeka babavunaanibwa okuli George Musisi ne Benjamin Katana batadde akazito ku ludda oluwaabi lunnyonnyole akawaayiro mweluvunaanira abasibe bano kubanga omusango ogwo gulina kuggulwa kumuntu alina akabinja kabayeekera kaakolagana nako oba si ekyo nga waliwo emsi emuvujjirira okukola obuyeekera.
Ebibuuzo bya bannamateeka bano bireetedde abawaabi ba gavumenti okutuuyana nga bwezikala nebamala eddakiika nga kkumi nga babikkula ebitabo okunoonya akawaayiro kano era bwekababuze nebasaba kkooti omusango egwongereyo.
Munnamateeka Musisi ategeezezza nti abantu be okubaggulako ogwokulya munsi olukwe kugendereddwamu kusigala nga babakuumira mu nkomyo ekintu ekirinyirira eddembe lyabwe.
Bino webijjidde nga kkooti eggulo yayimbuddeko abasibe 4 ku 32 ku kakalu kaayo ekitegeeza nti 28 bebakyalwana okulaba nti beeyimirirwa.