
Bya Francis Ndugwa
Kinawataka – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okutandikawo amasomero mu bitundu by’omugotteko naddala mu Kampala kiyambeko okukyusa embeera y’abantu be n’okukendeeza ku muwendo gw’abaana abatasoma.
Omutanda bino byonna asiimye kubikolebwa ng’ayita mu kitongole kye ekya Kabaka Foundation era enteekateeka eno egenda kutandikira mu Kinawataka Katoogo mu ggombolola y’e Nakawa mu Kyaddondo nga yaakuwagirwa abantu be abali ebunaayira nga Bungereza era okukakasa kino okulambula kuno kukoleddwamu wamu n’omukiise wa Beene e Bungereza, Owek Ronald Lutaaya.
Ssenkulu w’ekitongole kino, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala ategeezezza nti Nnyinimu yalabye obwetaavu oluvannyuma lw’okizuula nti abaana bangi tebasoma olwa bazadde baabwe okubulwa ssente kyokka nga buli lukya abaana bano beeyongera kukula.
Omukungu ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka yalagidde enteekateeka eno etambuzibwe ne mu bitundu by’omugotteko ebilala, okusobola okutumbula ebyenjigiriza.

Okusinziira ku kunoonyereza, Kampala erina ebifo by’omugotteko ebiwera 300 nga ku bino, ebitundu 99 ku buli 100 abantu abawangaalirayo bamufunampola nga beetaaga okuyambako. Bano basanga okusoomoozebwa omuli endwadde enzibu, okubulwa eby’okulya n’omuwendo gw’abaana abatasoma omungi nga bano bamaliriza beekyaye ne bayingira ebikolwa ebimenya amateeka.
Kizuuliddwa ng’ekifo kya Katoogo Kinawataka kye kimu kubifo ebyomugotteko ebisinga okubeeramu abaana abatalinnyangako ku ssomero.
Ssentebe w’ekitundu kino Yafeesi Lukwitira agambye nti naye ng’omukulembeze kimususseeko era mweraliikirivu ng’abaana singa tebafiibwako bandifuukira eggwanga lino ekizibu n’ayaniriza ekya Beene okubakwasizaako.
Ono annyonnyodde nti ng’ oggyeeko abaana obutasoma buli lunaku afuna emisango gy’abaamaka agadobonkanye kyokka poliisi temukwatizaako, ekintu kye bagamba nti kiva ku baami abasudde obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ye omwami wa Kabaka omukise e Bungereza, Owek Ronald Lutaaya agambye nti baakwekolamu omulimu okutuukiriza ekiragiro kya Kabaka.









