
Bya: Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye okusimbula abaddusi abagenda okwetaba mu misinde gy’Amazaalibwa ge ag’emyaka 68 ku Ssande nga 16, April 2023 eginaayindira mu Lubiri e Mmengo.
Kino kiteereddwa mu kiwandiiko ekivudde mu woofiisi ya Katikkiro nga kirambika ku nsonga eno.
“Katikkiro wa Buganda, Owek Charles Peter Mayiga ategeeza Obuganda nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okulabikako eri Obuganda ku Ssande nga 16, Kafumuulampawu (April), bw’anaaba agenda okuwuubira emisinde gy’ amazaalibwa ge mu Lubiri lw’ e Mmengo,” ekiwandiiko bwekisomye.
Ekiwandiiko kino kinyonnyola nti emisinde gigenda kutandika ku ssaawa 12 ez’oku makya era nga wadde okudduka okutongole kugenda kubeera mu Lubiri e Mmengo, naye Abaami b’Amasaza bajja kusimbula abaddusi mu masaza ag’enjawulo wonna mu Buganda.
Bino webijjidde nga ebula mbale emisinde gino giddukibwe nga nekumulundi guno, Nnyinimu yasiima omulamwa gusigale ku baami okubeera abasaale mu kulwanyisa mukenenya basobole okutaasa abaana ab’obuwala.
Era wano minisita w’Amawulire mu Bwakabaka Owek. Noah Kiyimba w’asinzidde n’asaba abantu okwefunira obujoozi bw’omwaka guno ng’ obudde bukyali kuba bwatuuka dda ku katale.
Kinajjukirwa nti omwaka guno emisinde gino gigenda kuba giweza emyaka 10 nga giddukibwa era nga gyegimu kw’ egyo egisinga okwetabwamu abantu abangi mu Afirika.









