• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyemizzanyo

Beene asiimye okuggulawo empaka z’Ebika, Buganda etaddemu obukadde 130

Gambuuze by Gambuuze
May 31, 2022
in Ebyemizzanyo
0 0
0
Beene asiimye okuggulawo empaka z’Ebika, Buganda etaddemu obukadde 130
0
SHARES
50
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’Ebika bya Baganda e Luweero mu Bulemeezi.

Bino Katikkiro Mayiga abyanjulidde bannamawulire e Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atongoza empaka z’Ebika ez’omwaka guno nasaba buli kika okuzeetabamu kuba enteekateeka bagitaddemu obukadde obuwera 130..

“Engabo egenda okulwanira okutandika nga June 11, omwaka guno e Kasana Luweero mu Bulemeezi. Nina essanyu lingi nnyo okulangirira nti emipiira gy’ebika 2022 ngitongozza era ekika eky’Engo kyekigenda okuggulawo n’Embwa,” Owek. Mayiga bw’agambye,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku bululu obwakwatiddwa bazzukulu ba Muteesaasira ab’Engo bebagenda okuggulawo naba Mutasingwa ab’eddira Embwa e Luweero mu Bulemeezi nga July 11, 2022.

Kinajjukirwa nti emyaka giweze 68 ng’emapaka zino zikuumakuma Abaganda nokutumbula ebitone  wabula emyaka 2 egiyise, tezasobola kubaawo olw’ekirwadde kya COVID-19

Owek. Mayiga asabye ebika eby’enjawulo okujjumbira emipiira gino baleme kulinda kumanyagana mu nnyimbe n’Okwanjula.

Minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo mu Buganda Owek. Henry Kiberu Ssekabembe ategeezezza nti ekiriwo Kati kiraga obukulu bw’ebika nasaba buli omu akwatibwako akole omulimu gwe kiyitimuse omutindo n’okukuuma ekitiibwa ky’empaka zino.

Ye  Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba  ebazizza nnyo abo bonna abaliko byebakoze okukuuma emipiira gino nasaba Ebika eby’enjawulo okuvaayo babugirize Omutanda ku lunaku olwo.

Engabo eyawakanirwa mu kiseera kino eri mu mikono gy’Ekika ky’ Olugave kyekibadde nayo era ekomezeddwawo nekwasibwa Kamalabyonna nga akabonero akeetegekera olutabaalo oluggya.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Owek. Amis Kakomo, bajjajja abakulu bebika, abaami b’ Amasaza n’abantu abalala.

Share this:

Tags: Ekika ky'EngoEkikopo ky'EbikaJjajja MuteesaasiraKatikkiro MayigaMinisita Henry Ssekabembe KiberuOmutaka MutasingwaOmutaka NnamwamaSsaabasajja Kabaka asiimye
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist