Bya Francis Ndugwa
Kampala
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’agenyiwalako mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero mu malya g’ekyemisana leero ku Lwokubiri.
Kino kirangiriddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Nnyinimu ku bugenyi abadde awerekeddwako, Katikkiro Mayiga, Omulangira David Kintu Wasajja n’omutaka Namwama Augustine Mutumba
“Ayaniriziddwa Pulezidenti Yoweri Museveni emboozi nayo nebaginyumya naye nga bwemumanyi abakulembeze tebabulwako nsonga nkulu ze beegeyaamu era emirundi mingi bwewaba wabaddewo ensonga, abakulemnbeze ne beegeyaamu, zitambula mu kkubo eriganyula buli ludda.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza bannamawulire.
Katikkiro Mayiga agamba nti ensisinkano eno egenda kuganyula Obuganda ne Uganda kuba egenda kuvaamu ebibala.
Bino webijjidde nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yakamala okulabula gavumenti obutagezaako kweyimba mu kya kuggyawo ttaka lya mayiro era nalaga nti Buganda tejja kulekerawo kubanja gavumenti bintu byaayo.