
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mawogola
Minisita w’ Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko alaze nga Ssaabasajja Kabaka bwagenda okwongera okusitula embeera z’abantu be era y’ensonga lwaki azimbye amalwaliro era agenda okutandikawo amasomero g’abaana aga Nnasale ku buli ssaza okwongereza ku matendekero gatonzeewo.
Obubaka buno abuwadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’ okutuuza Omwami w’ e Mawogola Muteesa Kankaka John Kalinzi awamu n’Abamyuka be okuli; Muky. Susan Namukwaya, Mw. Ssenkungu Godffrey ku mbuya ya Ssaabawaali Mijwaala.
Omukolo gw’ okutuuza gukoleddwa Owek Cotilda Nakate Kikomeko, kulwa Katikkiro era bano abakwasiza ebyuuma ebibayambako okulamula essaza era nebagabula ekijjulo ekisoose.
Oweek. Nakate akulisiza Muteesa n’ Abamyuka be naabakutira okugonjoola emiwaatwa gyonna egiri ku ttaka e Mawogola. Yeebaziza nnyo Kabaka okuva nga attaddewo obukulembeze ku buli mutendera ekiyambyeko okulondoola entambuza y’emirimu mu Bwakabaka.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Joseph Kawuki akakasizza nti Obwakabaka bwakukola ku babbi b’ettaka awatali kuttira muntu yenna ku liiso nga amateeka.
Akowoodde buli alina weyatunda okuzzaayo ensimbi zeyaweebwa kubanga ettaka lya Kabaka teritundibwa era Obwakabaka bwakulinunula akadde konna.
Oweek. Kawuki atendereza nnyo okukwatagana okuliwo wakati w’abakulembeze mu Bwakabaka ne gavumenti ey’awakati nga kino kyeyolese lwatu mu nkola ya Luwalo lwaffe.
Omukolo guno gwetabidwaako Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, Omutakka w’Ekika kye Kinyomo, Omutakka Nakigoye, abaami ba Kabaka ku buli mutendera, abakulembeze okuva mu gavumenti ey’awakati nabalala.