Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obuganda bubugaanye essanyu olw’okulaba ku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 29.
Abakiise okuva mu masaza ag’enjawulo bakedde ku maliri okutuuka ku mbuga enkulu e Bulange- Mmengo ewali ekisenge ky’Olukiiko olwo ne balinda Omuteregga okutuuka ate abamu obwedda emikolo bagigoberera ku BBS Terefayina ne leediyo ya CBS.
Era zigenze okuwera essaawa ettaano nga Ccuucu mutaka. Ono abadde awerekeddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda ne Nnaalinnya Lubuga era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’Omukubiriza w’Olukiiko, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.
Omutanda bw’atuuse asiimye n’alamusa ku ng’oma za Mujaguzo nga kino abadde yasiima kiwummuzibwe olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era oluvannyuma ayingidde mu Lukiiko okuluggulawo omulundi ogwa 29 wakati mu nduulu n’okukubirwa emizira okuva mu bakiise.
Omuteregga bw’ateredde ku Nnamulondo olwo Olukiiko ne lutandika era Kamalabyonna amusomedde abagenyi ab’enjawulo ababadde ku mukolo guno omubadde Omulangira David Kintu Wassajja ne Supreme Mufti omuggya, Sheikh Muhammad Galabuzi awamu n’abalala.
Oluvannyuma amannya g’abantu Omutanda be yasiima n’awa Obwami gayitiddwa era wano abamu beeyanzizza Obwami era abalala be bakiikiridde bannaabwe olw’ekirwadde kya Corona.
Katikkiro Mayiga abuulidde Obuganda nga Ssemunywa bw’asiimye okubulamusaako era wano enduulu efubutuse mu buli nsonda y’ekisenge ky’Olukiiko.
Mu bubaka bwe, Omutanda abantu be abawadde ensonga 3 ezirina okuteekebwako essira omubadde; obutakoowa kusaabulula bigambo ebibungeesebwa bannakigwanyizi abaagala okusaanyaawo Obwakabaka, okulwanyisa enguzi eviiriddeko okusaanyaawo obutonde bw’ensi n’okulwanyisa ebikolwa eby’okusosola mu bantu nga baweebwa emirimu wamu n’Okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.
Beene yeebazizza abakiise abalafuubanye okunywerera ku biba biteeseddwako n’okubissa mu nkola. Abakalaatidde obutassa mukono mu kulung’amya abantu eri bannakigwanyizi ne basserwajjookwota abagenderedde okusaanyaawo Obwakabaka.
Maasomoogi alabudde nti obukenuzi nti tebukomye kuzing’amya kutuusa mpeereza, naye enguzi ekoze kinene okwonoona obutonde bw’ensi awatali kulumirirwa biseera bya nsi ebyomu maaso.
Omutanda avumiridde enkola ey’okusosolamu abantu nga baweebwa emirimu; abasaanidde empapula zaabwe ne zisuulibwa mu kasero ate abalina ensimbi ezigulirira ne bayitawo.
Empologoma ezzeemu okukubiriza abantu baayo baleme kwerabira nti kaweefube w’okulwanyisa Mukenenya alina okwenyigirwamu buli muntu, olwo olutalo we lujja okuwangulwa.
Omutanda asiimye n’aggulawo Olukiiko luno ate n’ayagaliza abantu be eggandaalo ly’ennaku enkulu ery’ebyengera.
Ate ye Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti wadde wabaddewo okusoomooza kw’ekimbe kirumiimamawuggwe, enkiiko zibadde zituula era n’ebiteeso ne birondoolwa bulungi.
Owek. Mayiga akubirizza abantu ba Beene obutatiiririra Nnamulondo akadde konna, okutaasa ebiseera ebijja.
Bw’amaze okuggulawo Olukiiko olwa 29, Omutanda asiimye n’addamu okulamuza ku mujaguzo, ate era n’abuuza ku baami b’amasaza n’eggombolola abaasigadde wabweru olw’ekirwadde kya Covid -19.
Katikkiro era alaze Beene ekkubo erizimbiddwa okuyambako abantu abalina obulemu okwanguyirwa okuyingira mu kizimbe kya Bulange era n’asiima enteekateeka eno.