
Bya Ssemakula John
Kampala
Wabaddewo okubwatuka okugambibwa okubeera okwa bbomu mu Kampala nga kigambibwa nti waliwo abafudde awamu n’abafunye ebisago ebyamaanyi.
Kigambibwa nti bbomu emu ebwatukidde ku luguudo lwa Parliamentary Avenue ate endala ebadde okuliraana Kampala Central Police Station (CPS).
Kino kireeseewo obunkenke awamu ne ddukadduka mu Kampala era ab’ebyokwerinda balabiddwako nga bagoba abantu mu bizimbe nga beekengera ku biyinza okuddirira era tewannabaawo kitegeerekeka ku kika kya bbomu zino ezibwatuse.
Ebifaananyi ebirabiddwako ku mutimbagano biraze egimu ku mirambo ate ng’abadduukirize babadde baliko abantu be bagezaako okuyamba okutwala mu ddwaliro.
Abeerabiddeko bagamba nti wabaddewo okubwatuka okwamaanyi era emmotoka eziwerako omubadde eza poliisi ze zimu ku zoonoonese olwa bbomu zino.

Mu woofiisi ezigobeddwamu abantu mulimu eya UBOS, KCCA, Minisitule y’ensonga z’ebweru, woofiisi z’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti awamu ne Minisitule y’ebyensimbi.
Obulumbaganyi buno buzzeewo nga waakayita Ssabbiiti bbiri zokka nga poliisi emaze okulabula ng’abatujju abakola obulumbaganyi bwe baamaze okulabula nga bano bwe bategeka okukola obulumbaganyi obwamaanyi naddala mu bifo ebyenkizo.









