Bya Ssemakula John
Mubende
Abantu abawera 23 basimattuse okufiira mu kabenje oluvannyuma lwa bbaasi ya Kampuni ya Link nnamba UBF 967K okukola akabenje mu disitulikiti ye Mubende.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Gwanika nga bukya ku luguudo oluva e Fort Portal okudda e Kampala.
Bbaasi eno ebadde eva Bwera mu disitulikiti ye Kasese nga edda Kampala era kigambibwa nti bbaasi yalemeredde omugoba waayo neyefuula emirundi egiwera.
Omu ku batwala Poliisi y’ Ebidduka e Mubende, Amos Katamba agamba nti akabenje kano kalabika okubeera nti kavudde ku mukka ogwabadde guva mu kkolero lya ‘Plywood’ eriri e Nabbingola nga gwegwalemesezza ddeereva okulaba gyalaga.
Abafunye ebisago ebyamaanyi batwaliddwa mu ddwaliro e Mubende nabalala mu malwaliro agaliraanyewo okusobola okufuna obujjanjabi.
Ku bano kuliko; Precious Tumwinyare, Wilson Asaba, Walter Muhindo, Cissy Isingoma, Eden Katungo, Denis Bwambale, Kennedy Mumbere, Gerald Byomuhamgi, ne Boniface Babala.
Abalala kuliko; Hope Abraham, Amon Akugizibwe, Angel Birungi, Esther Kavira, Musa Farouk, Kombi Mugoya ne Bwambale Celestine.
Bino webijjidde ng’ omwaka oguwedde abantu 25 bafiira mu kabenje akakolebwa bbaasi ya Link e Sebitoli ku luguudo luno lwelumu era minisitule y’ebyentambula yateekawo akakiiko okwali aba UNRA ne Poliisi okulaba obuzibu webwava.
Bano bazuula nti akabenje kano kaali kavudde ku kuvugisa kimama n’eddiima