
Bya Ssemakula John
Kampala
Abantu b’Omutanda bakedde mu Lubiri e Mmengo okuluyooyoota olwensonga nti we wagenda okubeera emikolo emikulu agy’ameefuga ku Lwokutaano era n’okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu.
Enteekateeka eno ekulembeddwamu Owek. Muzang’anda David Lule Mutyaba awamu n’Omwami w’essaza lya Kaggo Nakibirige Ssempa kw’ossa n’abaami abakulira amagombolola.
Owek. Lule agamba nti enteekateeka eno bagikutte n’amaanyi era bakakasa nti olunaku mulindwa we lunaatuukira ng’ekifo kiweesa omukolo ekitiibwa.
Ate ye Owek. Nakibirige Ssempa asabye abantu ba Kabaka okwettanira okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi okusobola okumalawo endwadde mu maka n’ebitundu byabwe.
Enteekateeka eno yeetabiddwamu ne bannamikago okuva mu bitongole abyenjawulo okuli; ekya Euxifin international ne Miss Buganda Tourism nga bano basimbye emiti ng’akabonero k’okukuuma obutonde bw’ensi.









