Bya Ssemakula John
Makindye
Bayinginiya b’ekitongole ki ‘Kampala Capital City Authority (KCCA)’ babiri bakwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti bakkiriza omugagga okuzimbibwa ekyagwiridde abantu e Makindye nga talina pulaani yaakyo.

Kino kiddiridde ekizimbe kya kalina eky’emyaliro ena ekibadde kizimbibwa mu Kelezia Zzooni okuziika abantu abawerako mukiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Patrick Onyango, yagambye nti abakwate kuliko ateekerateekera ekibuga owa divizoni ye Makindye Anne Ochom n’ omulambuzi w’ebizimbe ebibeera bizimbibwa Joseph Balikuddembe bagiyambeko mukunoonyereza.
Onyango yategeezezza nti abakwate bano abakuumirwa ku poliisi ye Katwe bamanya nti ekizimbe kino tekirina pulaani nebasooka nebayimiriza okukizimba ate oluvanyuma nebabakkiriza omugagga okugenda mu maaso n’okukizimba.
“Ochom ne Balikuddembe bagenda ku kizimbe kino nebayimiriza okukizimba era nebateekawo n’akapande ate nebamala nebaddayo nebakajjako,” Onyango bweyanyonyodde.
Ono yagasseeko nti bali ku muyiggo gw’ Omugagga Kagolo, omusuubuzi mu Kikuuba nga ye nanyini kizimbe kino neba Yinginiya be abaliira ku nsiko kati.
Onyango yayongeddeko nga adduumira poliisi ye Katwe Benson Byaruhanga, bweyayitiddwa oluvanyuma lw’okumutegeeza nti waliwo ekizimbe ekigwiridde abantu abasoba 8 era nga babadde bakyawagamiddemu.
Oluvanyuma lwa Poliisi ezikizza omuliro okutuuka, omu ku basikiddwayo nga musomesa eyabadde agenze okupoota Godfrey Oonyu yategeezezzaa nga bangi ku banne bwebakyaliyo.
Onyango yagambye nti bakyagenda mu maaso okunoonya abantu abakyawagamidde wansi w’ekizimbe kino ekyagudde.








