Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole Ky’Obulambuzi mu Bwakabaka ekya Buganda Heritage and Tourism Board basse omukago n’ekitongole kya Tubayo okulaba engeri gyebasobola okutumbulamu eby’obulambuzi mu Buganda era nebaleeta n’ebyobulambuzi ebipya okwongera okusikiriza abalambuzi.
Ku mukolo gwegumu Minisita w’obuwangwa n’Ennono mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male kwasinzidde natongozza empenduzo (App) ey’okumutimbagano egenda okweyambisibwa okwanguyirwa n’okumanya eby’obulambuzi ebiri mu Buganda nga omukolo guyindidde mu Lubiri e Mmengo.
“Eggwanga lyaffe erya Baganda ne Buganda ebintu by’okuyiiya twabikulemberanga nnyo. Tulina ebyafaayo ebingi, ne bwoba tofulumye Lubiri osobola okumanya bingi ebikwata ku Buganda,” Minisita Kyewalabye bw’ategezezza nakunga abantu okujjumbira eby’obulambuzi.
Owek. Kyewalabye ayanirizza omukago guno era nasaba abantu okujjumbira empenduzo eno eya Tubayo basobole okumanya ebintu ebyenjawulo kibayambe okubikuuma wamu n’okubiyigiriza abalala.
Okusinziira ku Minisita Kyewalabye abantu balina okuyiga okulambula baleme kufaayo ku kucakala kwokka naye bajjumbire okumanya ebyo ebibeetolodde kisobozese eby’obulambuzi okukula.
Minisita Kyewalabye asinzidde wano neeyebaza bboodi ya BHTB Olw’obuyiiya bwebongeddemu okulaba nga eby’obulambuzi mu Buganda biyitimuka.
Ssentebe wa boodi ya BTB Benon Ntambi agamba nti wakyaliwo okusoomozebwa kuba bannayuganda tebafaayo kwettanira ebyobulambuzi ebiri mu ggwanga nga kino kyekimu kubikuumidde eby’obulambuzi emabega.
Omukungu okuva mu kitongole ki Tubaayo Brian Namanya annyonnyodde nti buli lukya omutimbagano gweyongera okwetanirwa era basuubira yakuyambako okutumbula ebyobulambuzi ate nokubiyitimusa .
Ebimu ku byobuwangwa ebipya ebigenda okutumbulwa kuliko omweso ogwazanyibwanga bajjajjaffe okuwumuza ebirowoozo , okusogola omwenge , okukomaga , enfuba enganda n’ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu benjawulo , okuli Baminisita, abakungu ba Ssaabasajja n’abaweereza ba Kabaka mu biti ebyenjawulo.