Bya Musasi Waffe
Bwaise – Kyaddondo
Olwaleero, Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusubuzi n’Obuvubi Oweek Hajji Amisi Kakomo atongozoza Bboodi empya eya CBS PEWOSA Nsindika Njake Eyeeterekera SACCO Ltd ku Kolping Hotel, Bwaise. Bboodi eno ekulemberwa Omuk. Rashid Musisi Ssemanda
Ate Olukiiko Olulondoola emirimu gy’ekibiina lwo lukulemberwa Omw. Fredrick Musisi Lutaakome.
Oweek. Hajji Amisi Kakomo aguddewo omusomo oguteekateeka ba mmemba ba Bboodi bano abawereddwa obuvunanyizibwa okusobola okutambuza ekibiina.
Oweek. Hajji Amisi Kakomo ayozaayozezza ba mmemba abagya ne yebaza n’ababadde baweereza ku Bboodi enkadde. Asiimye nnyo Owek. Vincent Bbaale Mugera olw’omulimu omulungi ennyo gwakoze emmyaka 10 egiyie.
Ekibiina kya CBS PEWOSA kilina ba mmemba abasukka 250,000; kiwezezza emmyaka egisoba mu kkumi mu buweereza; CBS PEWOSA Nsindika Njake Eyeteterekera SACCO yeyazaala SACCO za PEWOSA endala, CBS PEWOSA yasooka kuba ya Bakyala kati ya bantu bonna.
CBS PEWOSA yeemu Ku makubo ag’okumwanjo nteekateeka y’Obwakabaka Nnamutaayiika mwe tunayita okusitula eby’enfuna n’embeera zabantu. N’Olwekyo Minisita abakubiriza Okukola naamanyi kubanga ebituukidwako bingi byetaaga okukuuma n’okwongerako.
Minisita abateegeezeza nti abalina obwetaavu okukwatizaako bangi ddala era omulimu tulina munene. Abasabye Okukola n’obumalirivu ate n’obwerufu. Bwamaze okuggulawo omusomo atongozza Bboodi era nabaagaliza obuweereza obulungi wamu n’obuwanguzi