Bya URN
Abantu bataano baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Luwero oluvanyuma lwo’kufuna ebisago ebyamanyi baasi yabwe mwebabadde batambulira okugwa ku kabenje ku kyalo Nakazi ku luguudo oluva e Kampala okudda eGulu.
Abataano mulimu Richard Obora, Michael Okello, James Oloya nga bava mu disitulikiti y’e Pader.
Abalala ye Betty Ajol ne Baker Okello abava mu disitulikiti ye Lira.
Bano baasi mwebabadde batambulira, UAM 834Y nga ya kampuni ya Real Bus Company ebadde egenda Kampala.
Kigambibwa nti omugoba wa baasi eno Gimei Richard emmotoka yamulemeredde oluvanyuma lw’okukubwamu amataala lukululana eyabadde eva e Kampala ng’edda e Gulu.
Ayogerera
poliisi mu kitundu ky’e Savanah Isah Ssemwogerere yagambye nti poliisi okuva e
Luweero yatuuse bunnambiro mu kitundu kino era abaabadde bakoseddwa nebaddusibwa
mu ddwaliro.
Abasaabaze abasukka mu 40 bbo tebaalumiziddwa era baafunye baasi endala nebeeyonegrayo n’olugendo lwabwe.
Poliisi y’ebidduka egezaako okujja baasi mu luguudo.