Bya Ssemakula John
Butikkiro – Mmengo
Akakiiko akaateeekebwawo okuddaabiriza eyali emmotoka ya Ssekabaka Edward Muteesa II ey’ekika kya Rolls Royce eyaddizibwa Obwakabaka gyebuvuddeko, olwaleero kasonze obukadde obusoba mu 300 ez’okuzzaawo emmotoka eno ng’omukolo guno guyindidde mu Butikkiro.
Mu kwogera kwe, Kamalabyona Charles Peter Mayiga ategeezezza nti emmotoka eno okuddizibwawo yeemu ku ngeri y’okuttukiza ennono n’ebyafaayo by’Obwakabaka ebizza ekitiibwa kya Buganda.
Owek. Mayiga agambye nti ebikolwa nga bino bye bimu ku binywezezza Obwakabaka obumanyiddwa era obwamaanyi era ebisobozesezza n’omulembe guno okubisanga .
Mukuumaddamula annyonnyodde nti Obwakabaka buluubiridde okuddaabiriza
Ate Omulangira David Kintu Wassajja yeebazizza abakungu ba Ssaabasajja abeebitiibwa n’abantu abalala abaliko ettoffaali lye bagasse ku nteekateeka eno, kuba emmotoka eno etegeeza bingi gye bali.
Akubirizza akabaga kano era ssentebe wa Buganda Twezimbe, Omuk. Kiyimba Freeman annyonnyodde nti omulimu guno gwakutandikibwako mbagirawo era baakukola ekisoboka okulaba nga gugguka.
Omukolo guno gwetabiddwako; omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa , omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko, owek.Ahmed Lwasa, Omuk. Micheal Kironde , Omuk. Emmanuel Katongole, abakungu ba Ssaabasajja ab’enjawulo n’abalala.
Kinajjukirwa nti akakiiko akaakwasibwa omulimu guno kakulirwa Mw. Joseph Yiga, abalala kuliko; Godfrey Kirumira, Emmanuel Katongole, Nnaalinnya Carol n’Omulangira Wassajja.