Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Obwakabaka nga buyita mu Minisitule evunaanyizibwa ku butonde bw’ensi bukwataganye ne Minisitule y’ebyamazzi mu gavumenti eyaawakati, ne basimba emiti gy’amabanda egisoba mu lukumi mu Lubigi okwongera okukuuma obutonde.
Enteekateeka eno yeetabiddwamu bannamikago abalala abalwanirira obutonde bw’ensi era bano balaze okutya olw’abantu abaleka ebisolo byabwe okutaataaya ne bimaliriza nga biridde emiti egisimbibwa.
Akulira okulwanirira entobazzi mu kitundu kya Buganda mu Minisitule y’amazzi, Nicholas Magara agamba nti baasalawo okukolagana ne Buganda okusimba emiti kuba Obwakabaka butaddemu amaanyi gonna okutaasa obutonde.
Magara ategeezezza nti baakwongera okukolagana n’ekitongole kya Kampala Capital City Authority, okumalawo okusoomoozebwa kw’ebisolo ebitaayaaya n’okusaanyaawo emiti egisimbibwa.
Ate ye amyuka ssentebe wa bboodi ya Bulungibwansi mu Bwakabaka, Rev. Wilberforce Ssekasiko alaze okutya olw’abantu abasaanyaawo ensi ya Uganda ekkula kyokka nga Katonda yali agiwadde byonna ebitasangibwa mu bitundu birala.
Enteekateeka eno y’emu ku ezo ezikulembeddemu okujjukira olunaku lw’ameefuga ga Buganda olwa 8/10, buli mwaka, Ssaabasajja Kabaka lwe yawaayo okukulizaako olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu mu Buganda.