
Bya Ssemakula John
Bulemeezi
Abantu ab’enjawulo abeetabye mu nteekateeka y’okugaba omusaayi eyindira mu ssaza lye Bulemeezi mu ggombolola ye Butuntumula, Mumyukansege, Katikamu n’awalala basabye ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu okufaayo ku nsimbi eziteekebwa mu by’obulamu okusobola okubitereeza.
Bano nga bakulembeddwamu Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala bategeezezza nti ensimbi eziyisibwa mu mbalirira y’eggwanga zikyali ntono era tezirina kyamanyi kyezisobola kukola kutereeza byabulamu.

“Bajeti bwetuuka nebagamba nti Minisitule y’ebyobulamu bagisaze ssente, ey’ebyenjigiriza bagisaze, ey’ebyobulamu n’ebyobulimi bagisaze, wabula ey’ebyokwerinda bagyongedde ssente n’enguudo zetutalaba zikolebwa. Obukuumi tubwetaaga naye onakuuma otya abantu abatali balamu,” Omuk. Ndagala bwe yategeezezza
Eyakuliddemu okugaba omusaayi e Bulemeezi, Msgr Francis Xavier Mpanga akuuma entebe y’ ow’essaza lya Ekleziya erya Kasana Luweero yeebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okulengera ewala natandika enteekateeka eno okusobola okutaasa abantu be.
Enteekateeka eno, yajjumbiddwa ababaka ab’enjawulo okuli omukyala ow’ekitundu kino Brenda Nabukenya, owa Katikamu North Dennis Ssekabira nowa Bamunaanika Robert Ssekitoleko.

Bano bategeezezza nti bagenda nti bakukunga bannabwe okulaba nti ensimbi eziteekebwa mu by’obulamu zongerwako.
Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza Bulemeezi Kkangaawo Omulangira Ronald Mulondo yasinzidde wano nasaba Bannabulemeezi okuvaayo mu bungi bawagira enteekateeka eno bateekewo okuvuganya okwamanyi okusobola okunywa mu mu masaza amalala akendo.
Omukungu okuva mu kitongole kya Uganda Blood Transfusion Services, Samuel Wante ne Sarah Mutegombwa owa Red Cross baweze okutwala enteekateeka eno mu maaso.
Enteekateeka eno yakayindira mu masaza 5 okuli; Buddu, Busiro, Singo, Kyaddondo ne Kyaggwe nga yakutambula okutuuka ku Lwokutaano lwa sabiiti eno nga 25 April.









