Bya Ssemakula John
Masaka
Munnamateeka w’omubaka wa Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo, asabye Omulamuzi wa kkooti ento e Masaka agobe omusango oguvunaanibwa omuntu waabwe ogw’okukuma omuliro mu bantu mu kamyufu ka NRM ak’omwaka 2010.

Kino kiddiridde Omuwaabi wa gavumenti, Sheba Byakutaga, okutegeeza Omulamuzi wa kkooti eno, Charles Yitesi, okwongerwa ku budde aleete abantu abalala abavunaanibwa ne Ssekikubo wamu n’bajulizi mu musango guno.
Byakutaga yategeezezza kkooti eggulo ku Lwokuna nti abajulizi b’alina, baalemeddwa okujja mu kkooti era n’asaba bongerwe ku budde, basobole okutereeza ensonga eno. Kino munnamateeka wa Ssekikubo, Alexander Lure, yakigaanye.
Lure yasabye kkooti egobe omusango guno n’ategeeza nti okugukomyawo mu myaka gwa 2020 kyakolebwa mu nsobi, kubanga kkooti yali yagugoba mu mwaka gwa 2010 oluvannyuma lw’okubulwa obujulizi.
“Omusango guno gwa 2010 naye gwakomezeddwawo mu 2020 lwa nsonga za byabufuzi. Omusango bagukomezzaawo nga bwe gwali mu 2010 nga tewali kye bakyusizzaamu era nga tusaba kkooti omusango guno egugobe, ensonga gye beekwasa yeeyo eyaliwo okusooka. Naye ate baagaana okutereeza ensobi entono eziri mu musango guno nga baddamu okuguwaaba.”” Alexander bwe yannyonnyodde.
Omulamuzi Yitesi yeewuunyizza lwaki oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta abavunaaanibwa ne Ssekikubo, ekintu ekisibye omusango.
“Mulina buli kyetaagisa naye ndaba buli mulundi omuntu omu yekka yaleetebwa mu kkooti ate ng’empaaba eriko abantu abalala. Bwe luba oludda oluwaabi terusobola kufuna bantu bano, bakole ennongoosereza mu musango babagyeko ku mpaaba, omusango gusobole okuwulirwa.” Omulamuzi Yitesi bwe yagambye.
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuuka nga December 10, 2020 okusobozesa oludda oluwaabi okwekenneenya omusango guno.
Ye Ssekikubo yeemulugunyizza lwaki gavumenti eremedde ku musango guno ogwa 2010 ogwali mu kamyufu ka 2010. Yagasseeko nti alowooza nti kino bakikola kumuggya ku byakulwanirira bantu be abanyigirizibwa mu kitundu kye.
Ono yagambye nti kikuba ensonyi okulaba ng’abantu abeeyagaliza ebyabwe basazeewo okukozesa kkooti z’amateeka okumulwanyisa.








