
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka basabiddwa okwongera okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu baana baabwe kiyambeko okunyweza n’okuggumizza obuwangwa bwa Buganda era kiyambe okubutwala mu maaso n’abalibaawo basobole okubusanga.
Okusaba kuno kukoleddwa Katikkiro w’ebyalo bya Ssaabasajja, Omuk. Moses Luutu bw’abadde atikkula bannasingo ebirabo bya Nnyinimu ku Lwokusatu e Mmengo mu Lubiri.
Omuk. Luutu ategeezezza nti emiti emito gye gisobola okuggumiza Buganda ey’enkya nga kino balina kukikola nga babasomesa awamu n’okubakuuma nga bamanyi ebifa embuga.
Asabye abazadde okufuba okuweerera abaana kiyambe okuteekateekera ebiseera bya Buganda ebirijja kuba ensi yeetaaga bantu basomye.
Ebirabo bino ebifuuse Amakula bireeteddwa okuva mu ggombolola ye Ssabawaali Kapeke ne Mutuba IX Mulagi okuva mu ssaza lye Ssingo.
Omwami atwala eggombolola ya Ssaabawaali Kapeke John Bosco Ssenyondo n’owa Mutuba IX Mulagi Peter Paul Kawooya Kikonyogo basabye abantu bulijjo okwettanira enteekateeka zonna ezibeera zireeteddwa Obwakabaka.
Abaami bano era baloopye embuga ebibasoomooza nga bakyala kimpadde bwe bamazeewo ettaka ly’Obwakabaka mu bitundu byabwe ne basaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu okutaasa embeera. Bano era bajjudde bye basuubira okutuukako omwaka guno.
Mu Makula agaleeteddwa kubaddeko; emmere, ebisolo, ebibala n’ebintu ebirala.









