
Bya Ssemakula John
Kampala
Abakungubazi ab’enjawulo beeyiye ku Lutikko e Lubaga okusabira eyaliko Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Jolly Lutaaya eyafa ssabbiiti ewedde era obwedda buli akwata akazindaalo ng’amutenda omukwano gw’abadde alina eri Buganda ne Kabaka we.
Ono bamusabidde era emmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ng’Obwakabaka bukiikiriddwa Owek. David Kyewalabye Male ng’ono atenderezza omugenzi olw’okulwanirira Obwakabaka mu mbeera zonna.
Ate ye akulira oludda oluwabula gavumenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba asoose n’akusaasira Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okuvibwako musajja we.
Owek. Mpuuga agambye nti owek. Jolly Lutaaya yomu ku antu abaakola omulimu omunene okulaba ng’Obwakabaka bwa Buganda butumbula ebyenfuna by’abantu ba Kabaka nga teyeebalira n’asaba bannayuganda okumulabilako.
Mpuuga Nsamba agambye nti Owek. Jolly Lutaaya ye muntu eyabaaniriza mu Bwakabaka era yakola kinene nnyo okubayigiriza obukulembeze.
Ate ye Minisita omubeezi ow’amawulire n’ebyempuliziganya, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo asiimye omugenzi olw’okukolera Obwakabaka awamu n’okubeera ku bantu abaatandika leediyo ya CBS, n’asaba abantu abalala okumuyigirako.
Okusaba kuno kwetabiddwamu abakungu abalala mu Bwakabaka okuli; Micheal Kawooya Mwebe n’Omukungu Godfrey Kirumira nga bano bamutenze okukola ennyo okukyusa embeera z’abantu mu Buganda mu kiseera we yabeerera Minisita wa gavumenti ez’ebitundu.
Owek. Jolly Lutaaya waakuziikibwa ku Lwokubiri ku ku biggya bya bajjajja be e Jalamba mu ssaza ly’e Butambala.









