Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abantu ba Ssaabasajja abalimira ku ttaka lye ery’e Mijwala Ssaabawaali mu Ssembabule, baaguddewo ekigwo bwe baasanze ennimiro zaabwe nga zisaanyiziddwawo abantu abatannategeerekeka mu kiro ng’ebirime ebyayonooneddwa mwabaddemu; kasooli, ebijanjaalo n’ebitooke.

Bano okuli; Ssande Godfrey, Kasekende Joseph n’abalala, baagamba nti emmere yaabwe yafuuyiddwa era nga baategezezza nti abaakikoze baagendereddemu kubalemesa kukolera ku ttaka lino naye nebawera obutatiirira Ssaabasajja.
Olunwe bano baalusonze mu bantu abaagala okunyaga ettaka lino nga bagamba nti y’ensonga lwaki bye baakoze baabikoze mu kiro era nebasaba aba Buganda Land Board okubayamba babataase ku batamanyang’amba bano.
Muteesa atwala essaza lino, Ssaalongo Sserwadda Muhammed, yavumiridde ekikolwa kino n’ategeeza nti abaakikoze baayagadde kubanafuya mu kaweefube w’okulirwanirira.
Muteesa yannyonnyodde nti abaagala okutwala ettaka lino buli lukya bongera okutulugunya abantu n’akakasa nga bwe bagguddewo omusango ku poliisi okunoonyereza ku kikolwa kino.
Ebikolwa bino, byawalirizza amyuka Muteesa, Suzan Namukwaya, okutuuza olukiiko lw’essaza mu bwangu ne bateesa ku nsonga eno era nebayisa ekiteeso ekivumirira ekikolwa kino.
Namukwaya yasabye abantu abaagala okukozesa ettaka lya Kabaka okuyita mu makubo agamanyiddwa kubanga Kabaka tagoba bantu.
Ekiteeso kino kyaleeteddwa omukiise w’essaza Mawogola mu Lukiiko lwa Buganda, Wamala Kuwatanya nekisembebwa Hajjat Fatuma Namugula, okuvumirira omuze gw’okubba ettaka lya Kabaka mu kitundu kino.









