Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulembeze b’amawanga abawerera ddala 21 be bakakasizza okwetaba ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kisanja kye ekyomukaaga. Okusinziira ku Minisita w’ensonga z’obwapulezidenti, Esther Mbayo, baakwetaba ku mukolo guno ogugenda okubaawo wiiki ejja ku kisaawe e Kololo.
Bino Minisita Mbayo abitegeezezza bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu Kampala, olwaleero ku Lwokubiri n’agattako nti naye basuubira omuwendo guno okweyongerako.
“Pulezidenti yayise abakulembeze 42 okuva mu Afirika n’eggwanga lyonna era ku bano 21 baamaze dda okukakasa nti baakubaawo,” Mbayo bw’agambye.
Kisuubirwa nti mu bano kuliko; Uhuru Kenyatta (Kenya), Samia Suluhu Hassan(Tanzania) Cyril Ramaphosa(South Africa), Salva Kiir(South Sudan), Paul Kagame(Rwanda), Felix Tshisekedi(DRC), Teodoro Obiang Nguema(Equatorial Guinea), Emmerson Mnangagwa(Zimbabwe), Edgar Lungu(Zambia) n’abalala.
Omugenzi Pulezidenti wa Chad Idriss Déby, naye yali omu ku baali bayitiddwa wabula eby’embi n’afiira mu kulwanagana n’abayeekera.
Mbayo agamba nti olwa Ssennyiga Corona, omuwendo gw’abagenyi gusaliddwako ne gudda ku bantu 4042, kisobozese okukwata ebiragiro by’okutangira Corona obulungi.
Okusinziira ku Mbayo buli disitulikiti ejja kuweereza abantu 17 bokka era mu bano mulina okubaamu ababaka abalonde aba Palamenti, bammemba ba CEC ya NRM, Ababaka ba EALA wamu n’abasuubuzi, bannaddiini wamu n’abakulembeze b’ensikirano.
Bino we bijjidde ng’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yaakamala okutegeeza ng’abooludda oluvuganya bwe bategese okutabangula omukolo guno nga beekalakaasa, okuggala enguudo awamu n’okukasuka bbomu enkolerere, ky’agamba nti tebajja kikkiriza era nga babeetegekedde.
Ate ye omwogezi w’eggye lya UPDF abadde yaakamala okutegeeza nga bwe waliwo obubinja obwagala okutabula omukolo gw’okulayira, wabula n’alaga nti beetegese ekimala.