Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo
Olwaleero abantu ab’enjawulo beekulumuludde okwolekera embuga y’Obwakabaka bwa Buganda enkulu e Bulange- Mmengo okwanukula ekiragiro kya Ssaabasajja ogw’okugaba omusaayi.
Enteekateeka ya leero ekulembeddwamu omumyuka w’Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, ng’omugabi w’omusaayi omukulu. Ono yeebazizza abantu abajjumbidde okugaba omusaayi.
Owek. Lwasa akubirizza abantu abatasobodde kuwaayo musaayi olwaleero okukozesa ennaku ezisigaddeyo okusobola okumalawo ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.
“Buli lw’ogaba omusaayi obeera olina obulamu bw’otaasizza. Noolwekyo tuveeyo mu bungi tutaase abantu abagwetaaga.” Owek. Lwasa bw’asabye.
Mu ngeri y’emu yeebazizza nnyo ebitongole ebyenyigidde mu kaweefube ono okuli aba Nakasero Blood Bank, Red Cross ne Kabaka Foundation.
Enteekateeka eno olwaleero esinzeemu bavubuka era nabo basabye abantu ab’enjawulo okujjumbira enteekateeka eno.
Omu ku bano, Kato Isma, ategeezezza nti afiiriddwa abantu be olw’ebbula ly’omusaayi nga teyandyagadde muntu we mulala kufuna kizibu kino.
Ku mulundi guno enteekateeka y’okugaba omusaayi egenda kumala ennaku nnya okwawukana ku nnaku ebbiri olw’okugoberera ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona nga basobozesa abantu okwewa amabanga.
Mu ngeri y’emu, Obwakabaka buzzeemu okugema ekirwadde kya Hepatitis ‘B’ era abantu ab’enjawulo basabiddwa okuvaayo bajjumbire enteekateeka eno, kibayambe okwekuuma ekirwadde kino.
Aba Kabaka Foundation basabye n’abantu ababadde batannalayo ddoozi n’abo abatagemwangako okugendayo mu nnaku zino basobole okuyambibwa.