Musasi waffe
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunanyizibwa ku by’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Oweek. Henry Sekabembe Kiberu agambye singa Uganda yeteekateeka bulungi, esobola okuwangula engule nnyingi nnyo mu by’emizannyo. Okwogera bino Sekabembe abadde mu Bulange e Mmengo mu kuggalawo omusomo gw’ebyemizannyo ogumanyiddwa nga sports administration and management training, ogumaze ennkau ssatu nga guyinda.
“Uganda nga tweteeseteese bulungi, netukola byetuteekeddwa okukola nga bwetuteekeddwa okubikola, mu butonde bwetulina, mu mmere gyetulya, ne mubaamu obuntu bulamu, ku ddaala lyonna mu nsi yonna tuteekeddwa okusobola okuvuganya n’okuwangula. Omukisa gusanga yeeteeseteese,” Sekabembe bwagambye. Omusomo guno ogwaggulwawo nga Gattonnya 11, gwawagiddwa ekibiina ekikola ku by’emizannyo mu ggwanga ekya Uganda Olympics Committee.
Okusinziira ku Oweek. Hassan Kiyemba, omusomo guno gugendereddwamu okuwa obukugu obw’enjawulo munzirirukanya y’ebyemizannyo
“Tujja kufuba nnyo okulaba nga abantu abaddukanya eby’emizannyo balina obukugu obw’enjawulo tusobola okutunda n’okusikiriza abantu bangi mu masaza gonna okulaba nga bawagira eby’emizannyo,” Kiyemba bwagambye.
Omusomo gwetabiddwamu abatendesi b’omupiira mu masaza, mu bika, mu masomero, obukiiko obukulembera eby’emizannyo mu Bwakabaka nga kwekuli akakiiko akakulembera omupiira gw’amasaza, akakulembera omupiira gw’ebika, omupiira gw’okubaka ogwe’bika, akakiiko akakulembera omupiira gw’amasomero n’ekikopo kya Nnaabagereka n’abamu ku bategesi b’emisinde. Omusomo guno gwagulwawo Oweek. Ssekabembe ng’ali wamu ne pulezidenti wa Uganda Olympics Committee William Blick.
Gwetabiddwamu abantu abawera 150.