
Bya Ssemakula John
Kampala
Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) alabudde bannayuganda okwetegekera okwekalakaasa omwaka guno ng’omu ku kaweefube w’okukyusa okuva mu mikono gya Pulezidenti Yoweri Museveni ne banne.
Dr. Besigye agamba nti obwegugungo bugenda kubeerawo si nsonga anaabeera akyali mulamu oba nedda naye tebukyasobola kwewalibwa ekiseera eggwanga lye kimala nga likyakulembera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Bino Besigye abyogeredde mu Kampala bw’abadde awayaamu ne bannamawulire ku nsonga eziriwo mu ggwanga.
“Okwekalakaasa kugenda kubeerayo omwaka guno oba ndi mulamu oba nedda. Siraba ngeri gye tusobola ku kwewalamu.” Besigye bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Besigye we bituuse si nsonga oba oli awagira National Resistance Movement (NRM) oba nedda kuba ebyenfuna bwe bidobonkana kikosa buli omu nga bannansi bagwanidde okwegatta beerwaneko ng’embeera tennasukka wano.
“Abantu bonna abakaaba olw’embeera y’ebyenfuna balina okwegatta embeera esobole okukyuka, kuba ebyenfuna bikosa buli omu.” Besigye bw’annyonnyodde.
Besigye agamba nti ekiseera kituuse bannayuganda beesalirewo ku bwe baagala ensi yaabwe.
“Ensonga egenda okugatta bannayuganda ku luno egenda kubeera byanfuna. Essaawa etuuse tutereeze eggwanga kuba ebyenfuna tebikyasobola kututwala mu maaso tulina eggwanga eritalina mafuta wadde ettondo, embeera eno erina okukyuka.” Ono bw’agasseeko.
Kinajjukirwa nti nga twolekera akalulu ka 2021, enjawukana zeeyoleka mu bibiina ebivuganya ng’abamu bagamba nti baalina essuubi nti basobola okuwangula akalulu.
Besigye ategeezezza nti alina essuubi nti singa abavuganya beegatta ne bakkiriza nti akalulu tekakyasobola kuggyako Pulezidenti Museveni kijja kubeera kyangu okumuwangula.









