
Bya Musasi Waffe
Banbury – Bungereza
Bannayuganda abawangaalira mu kitundu kye Banbury mu Bungereza bakoze ekibiina ekibagatta mu ngeri y’okunyweza obumu awamu n’okwekulaakulanya.
Ekibiina kino kituumiddwa ‘The Uganda Community in Banbury’ nga kino kyatongozeddwa ku wiikendi era ng’omukologuno gwayindidde mukitundu kino kyennyini.
Ku mukolo guno Obwakabaka bukiikiriddwa atwala ebyamawulire ku lukiiko lw’Omubaka atwala Bungereza ne Ireland, Omuk. Frederick Albert Mukungu.

Omuk. Mukungu asabye bannayuganda mukitundu kino okubeera obumu era bulijjo baleme kwelabira nsibuko yabwe era bafeeyo okulaakulanya obuvo bwabwe.
Ekibiina kino era kitunuulidde okutumbula enkuza y’abaana mu buwangwa n’ennono, obuntubulamu, n’okunyweza obumu mu bannayuganda abawangaalira eyo.
Mmeeya wa Banbury Jayne Strangwood yabadde omugenyi omukulu era yatongozza ekibiina kino.









