Abobuyinza mu ggombolola y’e Arinyapi mu disitulikiti y’e Adjumani bakutte bannansi ba South Sudan 200 ababadde bagezaako okuyingira Uganda mu bubba nga bayitira e Unyama mu Town Council ye Nimule.
Richard Amoko, akulira eggombolola y’e Arinyapi yagambye nti bano baakwatiddwa akakiiko k’eggombolola akakola ku COVID-19 era oluvannyuma baakwasiddwa ab’ebyokwerinda.
Ono era yagambye nti Bannansi ba South Sudan ababeera mu Uganda ng’abanoonyi b’obubudamu 100 nabo bakwatiddwa bwebaabadde bagezaako okudda mu ggwanga lyabwe.
Okuva mu March omwaka guno, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yaggala ensalo za Uganda zonna naawera abantu bonna okufuluma oba okuyingira eggwanga mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus.
Taban Peter Data, omubaka wa gavumenti w’e Adjumani yagambye nti kaweefube w’okusomesa abantu naddala ababeera mu magombolola agaliranye ensalo yavuddemu ebibala bino nga kati kyangu abantu okuloopa omuntu yenna omugwira gwebalaba mu kitundu kybawe.
Yagambye kino kibayambye okutangira abantu okwegatta n’abatuuze kyokka nga tekimanyiddwa oba balina coronavirus oba nedda.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Adjumani James Leku, yagambye kizibu nnyo okulemeseza ddala abantu okuyingira mu Uganda olwensalo obutaba na basirikale.
“Abagwira benjogeddeko nabo bantegeezezza nti bajja mu Uganda okufuna obujjanjabi n’ebyetaago ebirala,” Leku bweyagambye.
South Sudan newankubadde yeemu ku mawanga agaasembayo okufuna ekirwadde kya Coronavirus, wetwogerera kati ng’omuwendo gw’abakirina gugenda mu 2000 nga n’abalala 30 bebakalugulamu obulamu.
URN