Bya Musasi Waffe
Mpigi – Mawokota
Abantu ba Kabaka abawangaalira mu ssaza lye Mawokota nga bakulembeddwamu, Kayima Gabriel Kabong bategese omwoleso ogugenda okumala ennaku ebbiri okusobola okutumbula obuwangwa n’ennono awamu n’okumanyisa Bannamawokota ku bikulu ebiri mu kitundu kyabwe.
Enteekateeka eno erangiridde Kayima Gabriel Kabonge bw’abadde atongoza omwoleso guno ku mbuga y’essaza lino e Butooro mu ggombolola ye Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi.
“Bannamawokota, Si mwekka naye abantu mwenna mujje wano mwelolere, eby’obulambuzi ebirimu eby’obuwangwa, ebyennono awamu n’okuyiga okwekolera, era bamanye ebyenkizo ebiri mu Ssaza lyabwe,” Kayima bw’ategeezezza nga atongoza omwoleso guno.
Okusinziira ku Kayima Kabonge kino bakikoze okumanya abantu b’ekitundu kino eby’obuwangwa n’ ennono n’engeri gyebasobola okugyeyambisaamu okutumbula embeera z’obulamu bwabwe nga okulya emmere ennansi esobola okubawasa ekiriisa ate n’eddagala omurundi gwe gumu.
Kayima Kabonge era asinzidde ku mukolo guno nayambalira Bannamawokota abatakyayagala kukola nga obudde babumalira kwebyo ebitabagasa ate bwebatuuka mu bwetaavu nebatandika okusabiriza.
Ye avunaanyizibwa ku by’obulambuzi obutale n’obusuubuzi mu disitulikiti ye Mpigi Kazibwe Ronald ategezezza nti disitulikiti ye Mpigi erina enteekateeka y’okutumbula obuwangwa n’obulambuzi nga balambika ebifo eby’enjawulo ebiri Mawokota.
Omwoleso guno gwakutandika nga 16, ogw’omukaaga omwaka guno gukomekerezebwe nga 18 omwezi ogw’omukaaga omwezi gwegumu.