Bya Yusuf Muwuluzi
Buddu Masaka
Bannakibiina kya National Unity Platform mu Buddu, bali mu keetalo nga balindirira Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwewandiisa era akakasibwe ku banaavuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna aka 2021.
Nga omu ku kaweefube w’okwetegekera olunaku lwa 3/11/2020 Kyagulanyi lw’agenda okwewandiisizaako bano eggulo ku Lwokuna baatongozza ekifaananyi kya Bobi Wine ky’agenda okukozesa mu kalulu kano era ne bakiraga bannamasaka mu butongole.
Omukolo baagukwatidde mu kibuga Nyendo ku kyalo Block A ekyakazibwako erya Benghazi, entabiro y’abamakanika n’abatunzi ba sipeeya mu kibuga Masaka, era ng’omugenyi omukulu yabadde omumyuka wa Pulezidenti NUP mu Buganda, Omubaka Mathias Mpuuga.
Bwe yabadde ku mukolo guno, Omubaka Mpuuga yalangiridde ng’olunaku Lwokubiri, Kyagulanyi lw’agenda okwewandiisizaako bwe luli olw’okuwummula eri bannakibiina mu ggwanga lyonna era n’abasaba okutandikirawo okunoonya akalulu akateeka Kyagulanyi mu ntebe ennene.
Mu balala abeetabye ku mukolo guno mwabaddemu bannakibiina abaawangula kkaadi mu Masaka n’ebitundu bya Buddu okuli; Abed Bwanika eyeesibyewo mu Kimaanya/Kabonera, Juliet Kakande Nakabuye ku kifo ky’omubaka omukyala owa Masaka City, Florence Namayanja ajja ku bwammeeya bw’ekibuga , bassentebe b’amagombolola wamu ne bakkansala.