
Bya Francis Ndugwa
Kasubi – Kyaddondo
Bannalulungi b’Ebyobulamuzi mu Buganda, Miss Tourism Uganda naba Curious Tours Africa , basiibye bakola Bulungibwansi mu Masiro g’e Kasubi wansi w’enteekateeka y’okutumbula obuyonjo n’okukuuma Obutondebwensi emanyiddwanga ‘ Let the Pearl shine ‘
Bano Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi, David Nkalubo abafalaasidde bulijjo okwagala obuwangwa bwabwe n’Ennono ate bafeeyo okubiyiga era babyagazise abantu abalala.
Ambasada w’Enteekateeka eno, Zakia Lucky annyonnyodde nti baruubirira kunnyikiza buyonjo mu bannayuganda n’okubasigamu ensigo ey’okubaagazisa ebyabwe.

Eyakulembeddemu banne era Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu ssaza Kyaddondo, Josephine Namaganda annyonyodde nti ku mulundi guno bazze mu Masiro okwongera okuggumiza ekitiibwa ky’Obwakabaka kubanga kifo kyankizo.
Akulira bakitunzi mu kitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda Ki Buganda and Tourism Board, Carol Nalinnya ategeezezza nti enkola eno egenda ebunyisibwa mu bitundu ebyenjawulo okwogera okutumbula obuyonjo.
Bino bijjidde mu kiseera nga ekitongole ki Buganda Heritage and Tourism Board kiri mu kaweefube waakuddamu kunoonya ba Nnalulungi bebyobulambuzi ab’okuddira abaaliko mu bigere oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okwolekera okuggwako.