
Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakyewa bavuddeyo nebasaba Pulezidenti Yoweri Museveni alonde Kaliisoliiso (IGG) wa gavumenti omujjuvu kiyambe okulwanyisa enguzi mu ggwanga.
Kitutte omwezi mulamba nga Uganda terina Kaliisoliiso oluvanyuma lw’ekisanja kya Kaliisoliiso eyaliwo Omulamuzi Irene Mulyagonja okuggwako natwalibwa mu kkooti ejulirwamu.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu, akulira ActionAid mu Uganda Xavier Ejoyi yategeezezza nti enguzi yeemu ku bintu ebiremesezza eby’enkulaakulana era nga Uganda ekwata kya kubiri mu mawanga agasinga okulya enguzi mu East Africa.
Ejoyi yagambye nti embeera teyinza kukyukako nga eggwanga teririna Kaliisoliiso.
“Wadde kaliisoliiso mukulu nnyo mukulwanyisa enguzi olw’obuyinza bwalina okunoonyereza, okukwata wamu n’okuvunaana omuntu eyenyigidde mu kulya enguzi, wofiisi eno teweebwa buyambi nansimbi zimala kutuukiriza kino,” Ejoyi bweyagasseeko.
Bannakyewa banyonyodde nga embeera wofiisi ya Kaliisoliiso gyerimu kati tesobola kuggulawo misango mipya ku balyi banguzi okujjako okugenda mu maaso n’emisango gyebabadde balina.
“Kino kiremesa okulwanyisa enguzi mu ggwanga naddala mu kiseera kino nga tugenda mu kalulu ka 2021, ” Cissy Kagaba, Ssenkulu wa Anti- Corruption Uganda bweyalambuludde.
Bannakyewa era bagamba nti wadde Pulezidenti Museveni yalonda Lt. Col. Edith Nakalema okulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti naye tekasobola kukola mirimu gyonna Kaliisoliiso gyalina kukola.
Bagasseeko nga akakiiko ka Nakalema bwekali akatono ennyo bwokagerageranya ku wofiisi ya Kaliisoliiso erina amatabi mu bitundu eby’enjawulo mu Ggwanga era nebasaba wofiisi eno eyongerwe ku nsimbi awamu n’abakozi.








