
Bya Shafic Miiro
Bulange – Kyaddondo
Abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka abawangaalira mu Kyaddondo bakiise embuga n’Oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 70 okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka.
Bano okusinga bavudde mu ggombolola 4 era omukolo guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Minisita Choltilda Nakate Kikomeko ow’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka y’atikudde oluwalo luno kulwa Kamalabyonna era neyeebaza abantu ba Beene abaleese ettu lino.
“Kaggo n’obukulembeze bwo, tubeebaza emirimu gye mukola obutassa mukama obutassa mwoyo nga kino kyeyolekedde mu bye mwetisse, mwebale nnyo okukola obutaweera, obuteebaalira ate n’okubeera abayiiya era abeerufu, omwo mwe muvudde obwesige obubasobozesezza okuleeta ettu eddene bweriti” Minisita Nakate
Owek. Choltilda asabye Abaami ba Kabaka bonna okufaayo okutumbula embeera z’abantu ba Beene nga bwekiri mu Nnamutayiika w’Obwakabaka 2023 – 2028, okwongera okukyuusa embeera zaabwe.
Wano akubirizza abantu okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe nga balya bulungi, okwekebeza endwadde n’okwejjanjabisa, okutwala ebyenjingiriza nga nsonga nkulu, okukuza abaana n’empisa ez’obuntubulamu, okukuuma ettaka n’okulikozesa obulungi basobole okwewala abalisaalimbirako.

Akiikiridde minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abantu ba Kabaka okunyweza ennyingo z’omulembe omuggya omuli Obuyiiya, Obwerufu, Obunyiikivu n’Okukola n’okwagala kibayambe okutuuka ku buwanguzi mu byonna bye bakola.
Owek. Kazibwe era alaze essanyu olw’abantu abazze mu bungi okukiika Embuga ate ne batalekaayo baana bato basobole okumanya ensonga.
Omwami w’Essaza Kyaddondo, Kaggo Owek. Hajj. Ahmed Magandaazi Matovu asabye abantu ba Buganda obutakoowa kuliikiriza Beene mu nkola ye Nswa era kino bakikole nga bayita mukuwaayo Oluwalo.
Eggombolola Mukulu wa Kibuga Lubaga y’esinze endala zonna mu kuleeta ettu ddene lya bukadde obusobye mu 33, n’eddirirwa Mutuba I Nangabo ate endala ezikiise kuliko; Mutuba V Kawempe ne Musaale Busukuma.
Mu balala abakiise embuga kubaddeko aba Teso Community okuva e Ssingo, Kabuwoko SS, ne Bannankobazambogo okuva mu masomero ag’enjawulo.









