Bya Musasi Waffe
Kampala
Enjega eyagwiridde Eklezia w’Omukama, ettukizza ebiwundu bya bannayuganda abazze bafa ebirwadde ebitali bimu okuva mu nzikiriza ez’enjawulo.
Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga
ng’ono y’abadde akulira essaza ekkulu erya Kampala era yasangiddwa ku Lwomukaaga ng’afiiridde mu kisenge kye, ekintu ekyatiisizza buli omu. Bino okubaawo Lwanga yabadde yaakamala okusaba gavumenti ekomye ebikolwa eby’okutulugunya bannansi era eyimbule n’abo abaakwatibwa. Dr. Lwanga yasembye okulabikako mu lujjudde ku Lwokutaano nga yeetabye n’abakkiriza mu Kristo nga batambuza ekkubo ly’omusaalaba era okufa kwe kwalangiriddwa Msgr. John Baptist Kauta. Mgr. Kauta yannyonnyodde nti okufa kwa Ssaabasumba kwabakubye entiisa kuba abadde teyeemulugunyaangako nti tawulira bulungi wabula okumusanga obusanzi ng’afiiridde mu kisenge kye.
Abasawo ba Ssaabasumba wamu n’abakugu okuva e Mulago bategeezezza nti yafudde kizibu kya mutima era afiiridde ku myaka 68.
Bisoopu John Baptist Kaggwa
Olunaku lwali lwa January 20, 2021, omusumba w’essaza eyali yakawummula John Baptist Kaggwa yafa oluvannyuma lw’okutawanyizibwa ekirwadde kya COVID-19 okumala emyezi ebiri. Okufaananako ne Dr. Lwanga, Bisoopu Kaggwa yali amanyiddwa olw’okulwanirira obwenkanya wamu n’okufuba okukulaakulanya abantu.
Ku myaka 78 gye yalina buli omu yali amumanyi ng’omulwanirizi w’eddembe kayingo atatya kubuulira gavumenti kituufu nga waliwo ekisobye.
Owoobusobozi Bisaka
Bisaka yali yeeyita Katonda era ng’alina abagoberezi abawereko. Ono yafa January 18, 2021 era ye mutandisi w’enzikiriza ya ‘Faith Unity’ nga we yafiira ng’aweza egy’obukulu 90.
Okufa kwa Owoobusobozi Bisaka kwalangirirwa ayogerera enzikiriza eno Omukwenda Mitooro era kyakuba wala abagoberezi be era n’okutuusa kati abamu ku bano baagaana okukkiriza nti ono yafa nga bagamba nti awummuddemu.
Sheikh Nuhu Muzaata Batte
Oluvannyuma lw’ekittabasiraamu okusirikamu mu 2015, Obusiraamu bubadde tebunnaba kuddamu kufiirwa mukulembeze alinga Muzaata.
Ono yafa omwaka oguwedde nga guggwaako nga December 4, 2020. Muzaata yamanyika nnyo olw’okwogera ku nsonga naddala ezinyigiriza abasiraamu mu ggwanga.
Shiekh Muzaata teyakoma okwo wabula yayambalira ne bannabyabufuzi abaali bakozesa obubi ebifo byabwe era ono obutambi bwe ng’ayogera, abasuubuzi mu Kampala batandika okubukolamu ssente. Muzaata yafiira mu ddwaliro lya International Hospital Kampala, oluvannyuma lw’okumala akaseera nga mulwadde era munywanyi we Hajji Latif Ssebaggala ye kakasa amawulire g’okufa kwe.
Sheikh Dr. Abdu Anas Kaliisa
Dr. Anas Kaliisa yali mumanyi era munnabyafaayo era okufa kwe nga November 4, 2020 kwasannyalaza eggwanga. Ono ajjukirwa nnyo olw’ekibiina kye ekya Salam Charity mwe yali ayambira abantu abeetaavu era yayambako okutandikawo Kaliisa Foundation, eyamba okuweerera abaana abeetaavu.
Ono yayatikirira nnyo olwa pulogulaamu gye yakolanga ku ttivvi ya NBS eya Ensi n’Ebyayo era yagenze okufa ng’azimbye emizikiti egy’enjawulo okwetooloola eggwanga.
Paasita Augustine Yiga
Paasita Augustine Yiga abasinga baasooka kuwakanya mawulire ga kufa kwe, oluvannyuma lw’amawulire okusaasaana nga October 20, 2020.
Yiga eyali amanyiddwa nga “Abizzaayo” olw’engeri gye yali akolamu ebyamagero wamu n’okuzzaayo eddogo eri eyalisindika era amakanda yali yagasimba Kawaala ku kkanisa ya Revival Church. Ono baali bamubise enfunda eziwera wabuli buli mulundi yavangayo n’ayambalira ababadde bamubika ku ttivvi ye eya ABS.
Ng’asinziira ku mukutu gwe ogwa ABS, Yiga yeesanganga mu buzibu n’ekitongole kya UCC ekivunaanyizibwa ku kulung’amya ebyempuliziganya olw’okumenya agamu ku mateeka gaakyo. We yafiira yali yaakamala okuyimbulwa okuva mu kkomera gye yatwalibwa olw’okuwubisa abantu ng’abagamba nti mu Africa tewali Corona wabula Ssennyiga owabulijjo.
Ono we yafiira ng’alina emyaka 44 era kigambibwa nti yafa bulwadde bwa kibumba.