Bya Ssemakula John
Mityana
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka bakungaanidde ku mbuga y’eggombolola ya Ssabagabo Kakindu mu Busujju okubangulwa ku birungi ebiri mu bweggasi.
Omusomo guno ogwetabiddwako Minisita w’Ettaka Obulimi obutonde bw’ensi n’obweggasi mu Bwakabaka Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, abakulembeze mu Mityana n’abantu abalala mu kaweefube w’okusitula embeera z’abantu ba Kabaka.
Bano Minisita Mayanja abasabye okujjumbira obweggasi era nga kino kijja kubayamba okuganyulwa mu nteekateeka z’Obwakabaka nga beetegese bulungi.
Minisita asabye abakulira ebibiina byobwegasi ebyenjawulo okubeera abeelufu ku nsonga y’ensimbi kisobole okunyweza obumu mu bantu bebakulembera.
Ate ye Omwami wa Kabaka atwala essaza lino Kasujju, Mark Jjingo Kaberenge mu bubaka bwatise omumyukawe Christopher Nsimbe yeebaziza Ssaabasajja kabaka olwokusosowaza essaza Busujju.
Akulira okutumbula embeera zabantu mudisitulikiti ye Mityana, Herbert Sserwanga abasabye obutatwalirizibwa muyaga gwa kufuna okw’amangu wabula beeyune ebibiina by’obwegassi kibayambe okukulakulana nga bali wamu kitole.
Abeetabye mu musomo guno basiimye Obwakabaka olw’omusomo guno wabula nasaba bwongere okubakwatizaako basobole okwekulaakulanya.