Bya Francis Ndugwa
Butikkiro – Mmengo
Abakulembera ttiimu y’essaza lya Buddu nga bakulembeddwamu Pookino Jude Muleke banjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga ekikopo kyebawangula mu mpaka z’omupiira gw’ Amasaza ez’omwaka oguwedde bwebakuba Buweekula 2-0 mu kisaawe kya St. Mary’s e Kitende.
Omukolo guno guyindidde mu Butikkiro e Mmengo ku Lwokubiri era Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano nabasiima olw’ekikolwa ky’obuzira kuba ekikopo kyebawangula kya muwendo nga emirundi egiwera babadde batuuka ku fayinolo naye nebalemererwa okukiwangula.
“Abasambi mwatukola bulungi era mwebale ekikopo kyatuwa essanyu. Nkulisa nnyo Ppookino ne Bannabuddu mwenna, n’olukiiko lwonna n’omutendesi simuleseeyo naye n’abazannyi. Ekikopo ky’Amasaza kya kitiibwa nnyo era kyekisinga okuyaayaanirwa mukitundu ky’ Obuvanjuba nga oggyeeko e Congo,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti ebitone ebyayolesebwa byonna biraga obukulu n’amaanyi g’omuzannyo guno.
Katikkiro Mayiga alaze obukulu bw’ensimbi mu muzannyo gw’omupiira okusobola okuwaayo ebikozesebwa n’ensako y’abazannyi nasiima abavujjirizi abayimirira wamu ne Buddu nesobola okutwala ekikopo.
Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ayozaayozezza Buddu olw’ okutuuka ku buwanguzi buno.
Yeebazizza obuwagizi obwayolesebwa Bannabuddu n’obumalirivu obwayolesebwa e Kitende wakati mu ttiimu eyali ennungi n’obukulembeze obumaliridde okuwangula.
Owek. Ssekabembe agamba nti ekiseera kituuse Buganda efune ekisaawe eky’ obwannannyini okusobola okulaakulanya omuzannyo guno mu Buganda ne Uganda era nalaga nga Buganda bwegenda okukola ekikopo ky’Amasaza nga kyefaanana kyokka mu nsi yonna okusobola okwolesa amaanyi n’obukulu bwa Buganda.
Omwami w’essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke ategeezezza nti emipiira gino gyongedde okubagatta n’okubakuumira awamu era nasaba ebitaataaganya omuzannyo guno okugyibwamu omuzannyo gusobole okugenda mu maaso.
Ye Muleke asiimye abasuubuzi bannamasaka abawangaalira e Kampala ne Masaka olw’omulimu amakula gwebakoze okulaba nga bavujjirira ttiimu y’essaza lino nesobola okusitukira mu kikopo kino.
Avunaanyizibwa ku ttiimu eno, Nalubowa yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okwagala Buddu nokugiwa obuwangizi mu buli ngeri yonna esoboka.