
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga za woofiisi ya Katikkiro, Owek Noah Kiyimba agumiza bannabitone abaagala okuzannya firimu mu bukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga bwe bagenda okuwagirwa Obwakabaka okusobozesa kino okutuukirira.
Obweyamo buno Owek. Kiyimba abuwadde asisinkanye bannabitone omuli abazannyi bafirimu abakiise embuga okwongera okuluŋŋamizibwa Kamalabyonna ku nsonga ez’enjawulo.
Minisita Kiyimba bano abategezeezza nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana nabo mu mulimu guno kubanga Maasomoogi yali yakiraba dda nateekawo minisitule nnamba evunaanyizibwa ku bitone n’ekigenderelwa eky’okuyambako abavubuka okuzuula ebitone byabwe saako nokutondawo emirimu.
Owek. Kiyimba abakubirizza okwetanira etterekkero ly’ebitabo ely’obwakabaka basobole okunnyonyoka ebyafaayo bya Nnamulondo nga tebatandiika okuzannya kunsonga z’obwakabaka ezitali zimu.
Minisita asabye Gavumenti okussa amaanyi mukubaga eteeka erirwanirira bannabitone li ‘Copyright’ olwo bannansi abali mu mulimu guno basobole okuganyulwa mu ntuuyo zabwe.
Abazannyi ba firimu minisita abakubiriza obutagwamu maanyi era balemere ku byebakola bwatyo nabasuubiza nti Obwakabaka bwakuyimirira nabo okusobola okutumbula omulimu gwabwe kubanga abantu bangi abaganyulwa mukuzannya firimu.
Akulembeddemu bannabitone bano Omulangira Kolobe Siraje asabye Kamalabyonna Charles Peter Mayiga olukusa okumuzannyamu firimun’ okukozesa ebifo eby’enkizo mu bwakabaka okwongera okubimanyisa ensi
Bano era basabye obwakabaka obuwagizi nga bayisa firimu zaabwe ku mikutu gy’obwakabaka okuli BBS ne CBS okusobola okumanyisa bannansi byebakola, era nebeeyama okumanyisa abantu ba Buganda ensonga ssemasonga ettaano nga bayita mu kuzannya firimu zino.