Banka ez’enjawulo zirangiridde nti zaakuggalawo ssaawa munaana okusobozesa abakozi baazo okudda ewaka bulungi nga tebakwatiddwa kafiyu atandika essaawa munaana.
Bukyanga gavumenti erangirira muggalo, banka zibadde ziggalawo essaawa mwenda.
Banka nga Diamond Trust Bank ne Orient Bank zaategeezezza ba kasitoma baazo obubabka obulaga nti bakendeezezza obudde bwebakoleramu.
Yo Orient Bank yagambye nti amatabi gaayo ag’omukibuga geegokka agagenda okusigala nga maggule mu nnaku ez’okukola ngate ku lw’omukaga ne Sunday gajja kuba maggale.
Ayogerera Orient Bank Emmanuel Njuki, yagambye tebaagala kussa byakwerinda bya bakozi baabwe mukatyabaga.
Akalippagano k’ebidduka mu kibuga bukyanga mmotoka zikkirizibwa okuddamu okukola ku lw’okubiri sabbiiti eno kaviirako abantu bangi okukwatibwa olw’okutambula ng’obudde bwa kafiyu butuuse.
URN